Ekyamateeka Olwokubiri 10
10
Musa aweebwa nate Amateeka
(Kubal 34:1-10)
1“Mu biro ebyo Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Bajja ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, era weekolere n'essanduuko ey'omuti.#Kuv 25:10,16; 34:1,2 2Nange nnaawandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye bye wamenya, era onoobiteeka mu ssanduuko.’ ”
3“Awo ne nkola essanduuko ey'omuti gwa sita, ne mbajja ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange.#Kuv 34:4; 37:1 4Mukama n'awandiika ku bipande amateeka ekkumi, ng'ebigambo bwe byali bye yababuulira olubereberye ku lusozi, ng'ayima wakati mu muliro, ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako. Mukama n'ampa ebipande ebyo.#Kuv 19:17; 20:1; 34:28 5Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nnali nkoze; era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.”#Kuv 34:29; 40:20, 1 Bassek 8:9
6( Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera. Alooni n'afiira eyo, era gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'amusikira mu kuweereza okw'obwakabona.#Kubal 20:28; 33:31,38 7Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda; ne bava e Gudugoda ne batambula okutuuka e Yotubasa, ensi ey'ensulo ez'amazzi.#Kubal 33:32,33 8Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama okumuweerezanga, n'okuwa abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gy'emirimu gyabwe n'okutuusa leero.#Kubal 3:6; 4:15; 8:14, Ma 21:5 9Ekika kya Leevi kye kiva kirema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda babwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba).#Kubal 18:20,24
10“Ne mmala ennaku ana (40) emisana n'ekiro ku lusozi, ng'omulundi ogwolubereberye; Mukama n'ampulira n'omulundi ogwo, n'atabazikiriza.#Ma 9:18,19 11Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka, okulembere abantu obayingize mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe okubawa.’ ”#Kuv 32:34; 33:1
Katonda byayagala abaana ba Isiraeri okukolanga
12“Kale kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wammwe byayagala mukole bye bino: Mutyenga Mukama Katonda wammwe, mutambulirenga mu biragiro bye byonna, mumwagalenga, era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna.#6:2,5,13,24; 7:11 13Mwekuumenga ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge bye mbalagira leero, mulyoke mubeerenga bulungi. 14Laba, Mukama Katonda wammwe ye nnannyini ggulu, n'ensi ne byonna ebirimu.#Nek 9:6, Zab 24:1; 115:16 15Mukama yayagala bwagazi bajjajjammwe, era nammwe bazzukulu baabwe kwe kubalonda okubaggya mu mawanga amalala gonna, era abaagala n'okutuusa kaakano.#Ma 4:37 16Kale mugonderenga Mukama Katonda wammwe, so temubanga ba mputtu.#Kuv 32:9, Leev 26:41, Yer 4:4 17Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda omukulu asinga ba katonda abalala bonna; era Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi, ow'entiisa, atasaliriza era atalya nguzi.#2 Byom 19:7, Nek 9:32, Yob 34:19, Zab 136:2,3, Dan 2:47, Bik 10:34, Bar 2:11, Bag 2:6, Bef 6:9, Bak 3:25, 1 Peet 1:17, Kub 17:14 18Asala mu bwenkanya omusango gwa bamulekwa ne bannamwandu, era alabirira bannamawanga ng'abawa eby'okulya n'eby'okwambala.#Zab 68:5; 146:9 19Kale nammwe mwagalenga bannamawanga; kubanga nammwe mwali bannamawanga mu nsi ey'e Misiri.#Kuv 22:21 20Mutyenga Mukama Katonda wammwe; oyo gwe munaaweerezanga; era oyo gwe munegattanga naye, n'erinnya lye lye munaalayiranga.#Ma 6:13; 11:22 21Oyo lye ttendo lyammwe, era ye Katonda wammwe, eyabakolera ebikulu era eby'entiisa, amaaso gammwe bye gaalaba.#Zab 22:3; 106:21,22, Yer 17:14 22Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu (70); naye kaakano Mukama Katonda wammwe abaazizza; muli ng'emmunnyenye ez'oku ggulu obungi.”#Lub 46:27, Ma 1:10
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri 10: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.