“Kale kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wammwe byayagala mukole bye bino: Mutyenga Mukama Katonda wammwe, mutambulirenga mu biragiro bye byonna, mumwagalenga, era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'obulamu bwammwe bwonna. Mwekuumenga ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge bye mbalagira leero, mulyoke mubeerenga bulungi.