Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna, anaatonnyesanga enkuba ku nsi yammwe mu ntuuko zaayo; enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, mukungulenga eŋŋaano, n'envinnyo n'amafuta okuva mu mizeyituuni.