1
Okubikkulirwa 3:20
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.
Vergleichen
Studiere Okubikkulirwa 3:20
2
Okubikkulirwa 3:15-16
Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga. Naye olwokubanga oli wa kibuguumirize toyokya so tonnyogoga, kinaandetera okukuwandula okuva mu kamwa kange.
Studiere Okubikkulirwa 3:15-16
3
Okubikkulirwa 3:19
Buli gwe njagala mmunenya era mmukangavvula; kale nyiikira okwenenya.
Studiere Okubikkulirwa 3:19
4
Okubikkulirwa 3:8
Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange
Studiere Okubikkulirwa 3:8
5
Okubikkulirwa 3:21
Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.
Studiere Okubikkulirwa 3:21
6
Okubikkulirwa 3:17
Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere.
Studiere Okubikkulirwa 3:17
7
Okubikkulirwa 3:10
Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.
Studiere Okubikkulirwa 3:10
8
Okubikkulirwa 3:11
Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo.
Studiere Okubikkulirwa 3:11
9
Okubikkulirwa 3:2
Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange.
Studiere Okubikkulirwa 3:2