Zekkaliya Ennyanjula

Ennyanjula
Nnabbi Zekkaliya awa obubaka bwe okuva 520 okutuuka 518 BC. Obubaka bwe bwali bukubiriza abantu okufuba okumaliriza okuzimba Yeekaalu ya Mukama. Obubaka bwa Zekkaliya bwajjira mu kiseera kye kimu n'obwa nnabbi Kaggayi (Ezera 5:1; 6:14). Ekitabo kino kirimu ebitundu bisatu: Mu ssuula 1-8, Zekkaliya ategeeza okwolesebwa kweyafuna okw'emirundi omunaana; mu ssuula 9-11, alaga nga Mukama bwajja okubonereza amawanga agetooloodde Isiraeri wamu n'abakulembeze ba Yuda abatali beesigwa; mu kitundu eky'okusatu, mu ssuula 12-14, Zekkaliya ategeeza nga mu biseera eby'omu maaso Yerusaalemi ne Yuda bajja kufugibwa amawanga amalala naye Mukama alijja n'anunula ekitundu ekirifikkawo.
Ebiri mu kitabo
I. Obubaka n'okwolesebwa (1:1—8:23).
A. Mudde gyendi nange nadda gye muli (1:1-6).
B. Okwolesebwa okw'emirundi omunaana (1:7—6:15).
C. Okuva mu kusiiba okudda mu binyumu (7:1—8:23).
II. Okudda kwa kabaka (9:1—14:21).
A. Obubaka obusooka: abakulembeze n'abantu (9:1—11:17).
B. Obubaka obwo kubiri: abantu n'abakulembeze baabwe (12:1—14:21).

S'ha seleccionat:

Zekkaliya Ennyanjula: LBR

Subratllat

Copia

Compara

Comparteix

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió