Ves al contingut

Nekkemiya 2

2
Nekkemiya afuna olukusa okugenda e Yerusaalemi (2:1-16)
1Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'abiri (20) ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwalirangako mu maaso ge.#Ezer 7:1, Nek 1:1,11 2Kabaka n'aŋŋamba nti, “Kiki ekinakuwazizza amaaso go, okulwala nga tolwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw'omu mutima.” Awo ne ndyoka ntya nnyo. 3Ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abe omulamu emirembe gyonna! Kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala ng'ekibuga ekifo eky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?”#1 Bassek 1:31, Nek 1:3, Dan 2:4 4Awo kabaka n'aŋŋamba nti, “Weegayirira ki?” Awo ne nsaba Katonda w'eggulu.#Ezer 5:12, Nek 1:4,5; 2:20, Dan 2:18 5Ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.” 6Kabaka n'aŋŋamba, kaddulubaale naye nga atudde naye nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? Era olidda ddi?” Awo kabaka n'asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera. 7Era nate ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka bw'anaasiima, mpeebwe ebbaluwa ez'okutwalira abaamasaza abali emitala w'omugga, banzikirize bampiseemu okutuuka mu Yuda.#Ezer 8:36 8Era ne nsaba n'ebbaluwa eri Asafu omukuumi w'ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez'enzigi z'ekigo eky'ennyumba era eza bbugwe w'ekibuga n'ez'ennyumba gye ndisulamu.” Kabaka n'ampa bye nnamusaba, olw'omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze.#Ezer 7:6 9Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w'omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b'eggye n'abeebagala embalaasi.#Ezer 8:22 10Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo, kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri.#Nek 4:1; 6:1; 13:4,28
Okusalawo okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi
11Awo ne njija e Yerusaalemi ne mmalayo ennaku ssatu. 12Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi, so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagalanga. 13Ne nvaamu kiro nga nfulumira mu luggi olw'omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery'oluzzi olw'ogusota n'omulyango ogw'obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro.#Nek 1:3 14Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw'oluzzi n'ekidiba kya kabaka; naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly'eneeyitamu. 15Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw'omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo. 16Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya, newakubadde bakabona, newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala bonna abali ab'okukola omulimu.
Okuwakanyizibwa okwasooka (2:17-20)
17Awo ne mbagamba nti, “Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi, bwe kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro. Mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume.”#Nek 1:3; 4:4, Zab 79:4, Yer 24:9, Ez 5:14,15 18Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti, “Tugolokoke tuzimbe.” Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi. 19Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti, “Kigambo ki kino kye mukola? Mwagala okujeemera kabaka?”#Ezer 4:13, Nek 4:1; 6:6 20Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti, “Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kye tuliva tugolokoka ne tuzimba; naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”#Nek 2:4