Yuda 1
1
Okulamusa
1Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, eri abo abayitibwa, abaagalwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo,#Mat 13:55 2okusaasira n'emirembe n'okwagala byongerwengako gye muli.#2 Peet 1:2
Omulamwa gwe bbaluwa
3Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira ku bulokozi bwaffe fenna, nnalaba nga nteekwa okubawandiikira nga mbakubiriza okulwanirira ennyo okukkiriza, abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.#1 Tim 1:18, 2 Peet 1:5; 2:21 4Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe, ne basinziira mu kyo okukola obukaba, ne beegaana Omukulu waffe omu yekka era Mukama waffe, Yesu Kristo.#Bag 2:4, 2 Peet 2:1
Okulabula ku bayigiriza ab'obulimba
5Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga mwali mwabitegezebwa dda, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza.#Kubal 14:35, 1 Kol 10:5, 2 Peet 1:12 6Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe, ya basiba n'enjegere ez'ennaku zonna, n'abassa eri ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango ku lunaku olukulu.#Lub 6:1, Yok 8:44, 2 Peet 2:4,9 7Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyali bibiriraanye, nabyo bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikolanga eby'okwegomba okw'obuwemu, byafuuka kyakulabirako nga bibonerezebwa mu muliro ogutaggwaawo.#Lub 19:4-25, 2 Peet 2:6,10 8Mu ngeri y'emu abantu abo mu kulootaloota kwabwe boonoona omubiri gwabwe, bagaana obuyinza ne bavvoola ne bamalayika ab'ekitiibwa.#2 Peet 2:10 9Olaba ne Mikaeri, malayika omukulu, bwe yali akaayana ne Setaani ku mubiri gwa Musa, teyayaŋŋaanga ku muvuma, naye yagamba nti, “ Mukama akunenye.”#Dan 12:1, Zek 3:2, 2 Peet 2:11 10Naye abo bye byonna bye batategeera babivvoola, era ebyo bye bamanyi mu ngeri y'obutonde, okufaanana ng'ensolo, bibaleetedde okuzikirira.#Lub 4:8, 2 Peet 2:12 11Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, olw'okwagala okufuna bakoze nga Balamu, bakuzikirira mu bujeemu nga Koola.#Lub 4:8, 2 Peet 2:15, Kubal 31:16; 16:22 12Abo baba nga amabala amabi ku mbaga zammwe ez'okwagalana, nga tebatya kwerigomba, nga beefaako bokka, nga bali ng'ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuuliibwa n'emirandira;#Ez 34:8, 2 Peet 2:13 13bali ng'amayengo ag'ennyanja esiikuuse, bye bakola biswaza. Era balinga emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo emirembe n'emirembe.#Is 57:20, 2 Peet 2:17 14Era abo Enoka, eyaliwo ku mulembe ogw'omusanvu okuva ku Adamu, yaboogerako nti, “Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakadde (1,000,000),#Lub 5:21, Ma 33:2, Zek 14:5 15okusalira bonna omusango, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.”#Mat 25:31 16Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli, era aboogerera waggulu ebigambo eby'okwewaana, era olaba bassaamu abantu ekitiibwa nga balina kye babagalako.#2 Peet 2:10,18
Okubuulirira okusembayo
17Naye mmwe, abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo;#2 Peet 3:2 18bwe baabagamba nti, “Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abantu abalibasekerera, nga batambulira mw'ebyo bye beegomba, era nga tebatya Katonda.”#1 Tim 4:1, 2 Peet 3:3 19Abo be bavako okwawula, abantu ab'omubiri, abatalina Mwoyo.#1 Kol 2:14 20Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu,#Bak 2:7, 1 Bas 5:11 21mwekuumirenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw'obulamu obutaggwaawo. 22Ababuusabuusa mubasaasirenga; 23era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.#Am 4:11, Zek 3:2, Yak 5:19, Kub 3:4
24Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza,#1 Bas 5:23, Baf 1:10, 2 Peet 3:14 25Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, okuva mu mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu emirembe egitaliggwaawo. Amiina.#Bar 16:27, 1 Tim 1:17, 2 Peet 3:18
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.