Yoweeri 1
1
Okusalira Yuda omusango n'olunaku lwa Mukama (1:1—2:17)
1Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yoweeri mutabani wa Pesweri.
Abantu bakungubagira okuzikirizibwa kw'ebirime
2Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege amatu, mmwe mwenna abatuula mu nsi ya Yuda! Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe? Oba mu biro bya bajjajjammwe?#Yo 2:2 3Kino mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe bakibuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe bakibuulire ab'emirembe egiriddirira.#Zab 78:4 4Ebyo akawuka bya kafissizzawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye fissizzaawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde.#Zab 78:46; 105:34, Yo 2:25, Am 4:9; 7:1 5Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu, kubanga gumaliddwawo okuva mu kamwa kammwe.#Is 24:11 6Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ly'amaanyi, era omuwendo gwabwe tegubalika; amannyo gaalyo galinga ag'empologoma, n'amasongezo gaalyo galinga ag'empologoma enkazi.#Kub 9:8 7Lizikirizza emizabbibu gyange, era lyabuluzamu emiti gyange emitiini; ligisasambuddeko ebikuta era ligisulidde ddala wansi; amatabi gaagyo gafuuse meeru. 8Kukungubaga ng'omuwala embeerera eyesibye ebibukutu bw'akungubagira bba, ow'obuvubuka bwe. 9Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddwawo okuva mu nnyumba ya Mukama. Bakabona bakungubaga, abaweereza ba Mukama.#Kuv 29:41, Ez 45:4 10Ennimiro zizise, ensi ewuubaadde; kubanga eŋŋaano ezikiriziddwa, omwenge omusu guweddewo, n'amafuta gaweddewo.#Kos 2:9; 4:3 11Munakuwale mmwe abalimi, mukungubage mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bizikiridde.#Yer 14:4 12Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera, omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro giwotose; era n'essanyu lya baana b'abantu liweddewo.#Is 16:10 13Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'oku kyoto. Mugende munda, muyite mu kiro nga muli mu bibukutu, mmwe abaweereza ba Katonda wange! Kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bikwatiddwa okuva mu nnyumba ya Katonda wammwe.#Mi 1:8, Lub 2:8,9 14Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe, era mumukaabire Mukama.#2 Byom 20:3 15Zitusanze olw'olunaku! Kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.#Is 13:6, Yer 46:10, Yo 2:1,11,31; 3:14, Ob 15, Zek 14, 2 Peet 3:10 16Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?#Ma 12:6,7 17Ensigo zivunda okuva mu bikuta byazo, amawanika galekeddwawo, amaterekero goonooneddwa; kubanga eŋŋaano eweddewo. 18Ensolo nga zisinda! Amagana g'ente gasobeddwa, kubanga tezirina muddo; weewaawo, n'ebisibo by'endiga birekeddwawo.#Yer 12:4, Kos 4:3 19Ayi Mukama, ggwe nkaabirira; kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro.#Zab 50:15, Yer 9:10 20Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira; kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu.#Zab 104:21
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.