Yobu 9
9
Yobu ayanukula Birudaadi
1Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2“Mazima mmanyi nga bwe kityo bwe kiri.
Naye omuntu ayinza okuwoza ne Katonda n'asinga?#Yob 4:17, Zab 143:2
3Bw'ayagala okuwoza naye,
Katonda bwamubuuza ebibuuzo olukumi (1,000), Tayinza kumuddamu kigambo na kimu.#Yob 10:2
4Katonda mugezi, era wa maanyi,
Ani amuwakanya n'alaba omukisa?#Kuv 7:13; 32:9, Yob 12:13
5Asiguukulula ensozi nga talina gw'abuulidde,
N'azisaanyawo mu obusungu bwe.
6Katonda aleeta okukankana kw'ensi,
Empagi zaayo ne zikankana.#Yob 26:11, Zab 75:3, Is 2:19; 13:13, Kag 2:6,21
7Alagira enjuba n'etevaayo;
N'emmunyeenye n'azibikkako ne zitayaka.
8Yabamba eggulu yekka,
Era yekka yakkakkanya amayengo g'ennyanja.#Lub 1:6, Yob 26:7, Zab 104:2, Is 40:22, Yer 10:22
9Yawanga emmunyeenye: Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga,
N'emmunyeenye ez'obukiikaddyo.#Yob 37:9; 38:31,32, Am 5:8#9:9 Emmunyeenye zirina amannya, ago ge gamu ku mannya ge bibinja bye mmunyeenye.
10Akola ebikulu ebitategeerekeka,
N'eby'amagero ebitabalika.
11Kale ampitako, ne ssimulaba.
Ne yeyongerayo mu maaso, kyokka ne simwetegereza.#Yob 23:8,9
12Bw'ayagala okutwala ekintu, ani ayinza okumuziyiza?
Ani anaamubuuza nti, ‘Okola ki?’#Yob 11:10; 23:13, Is 45:9, Yer 18:6, Bar 9:20
13Obusungu bwa Katonda tebukoma,
Abeteenta abalabe be, abayambi ba Lakabu.#9:13 Lakabu kirina amakulu asatu: kiyinza okutegeeza Misiri, oba Omulabe, oba ekikulejje ky'omu nnyanja. Laba 3:8; 7:12; 26:12;#Yob 26:12, Zab 87:4; 89:10; 104:26, Is 30:7
14Nze sirisinga nnyo obutamuddamu,
Nnyinza okufuna ebigambo okuwoza naye?
15Newakubadde nze sirina musango, siyinza kwewolereza.
Wabula okwegayirira Katonda, omulamuzi wange ansaasire.#Yob 10:15
16Ne bwe nandimukoowodde naye n'anziramu,
Sandikkiriza nti awulidde eddoboozi lyange.
17Kubanga ankubisa kibuyaga,
N'annyongera ebiwundu awatali nsonga.#Yob 34:6
18Taŋŋanya kussa ku mukka,
Naye anjijuza obubalagaze.
19Bwe kuba kukozesa maanyi, ye agansinza.
Bwe kuba kuwoza musango,
ani ananteekerawo obudde obw'okuguwulira?#Yer 49:19
20Newakubadde nga siriiko musango,
byenjogera binsaliza okunsinga.
Newakubadde nga sirina musango,
ajja kulaga nga bwe ndi omukyamu.#Yob 15:6
21Nze siriiko musango,
sikyerowoozaako,
Naye nneetamiddwa obulamu bwange.#Yob 1:1; 7:16; 10:1
22Bwonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
Azikiriza abataliiko musango, n'abakola ebibi.#Mub 9:2,3, Ez 21:3
23Akabi bwe kagwa ne kattirawo abantu,
Akudaalira abataliiko musango, ababonaabona.
24Katonda yawaayo ensi mu mikono gy'ababi
Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo;
Oba nga si Katonda, kale ani?#Yob 12:17
25Ennaku zange ziri ku misinde okusinga n'omuddusi,
Ziggwaako nga sizifunyeemu kalungi konna.#2 Byom 30:6, Yob 7:6, Yer 51:31
26Ziyise ng'amaato ag'embiro,
Ng'empungu ekka ku muyiggo.#Is 18:2, Kaab 1:8, Ma 32:39
27Bwe ŋŋamba nti ka nneerabira okwemulugunya kwange,
Mmweenyeeko nsanyuke,#Yob 7:13; 10:20
28Awo ne nzijirwa okutya obuyinike bwange bwonna,
Kubanga mmanyi nga toligamba nti siriiko musango.#Yob 10:14, Zab 119:120
29Omusango gulinsinga;
Kale nteganira ki obwereere?
30Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira,
Ne ntukuza engalo zange ne sabbuuni,#Yob 22:30, Is 1:25, Yer 2:22
31Era naye olinsuula mu kinnya ekijama,
N'engoye zange ne zintamwa.
32Kubanga Katonda si muntu nga nze, nze okumuddamu,
Newakubadde okuwoza naye.
33Tewali mulamuzi ali wakati waffe,
Anaatuwozesa n'atusalirawo.#1 Sam 2:25, Yob 9:19
34Katonda alekere awo okumbonyaabonya,
Era aleme okunkanga n'okuntiisa.#Yob 13:21; 21:9; 33:7, Zab 39:10; 89:32
35Olwo nnyinza okwogera nga sitya,
Naye si bwe ntyo bwe ndi.”
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.