Yobu 41
41
Katonda agenda mu maaso n'okwogera
1Oyinza okuvuba egoonya n'eddobo?
Oba okusiba olulimi lwayo n'omuguwa?#Zab 74:14; 104:26
2Oyinza okuyingizanga omuguwa mu nnyindo zaayo?
Oba okuwummulanga oluba lwayo n'eddobo?#2 Bassek 19:28
3Eneekwegayiriranga ogikwatirwe ekisa?
Oba n'eyogera naawe bulungi ogireke?
4Eneekola naawe endagaano,
Ekuweerezenga emirembe gyonna?
5Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ekinyonyi?
Oba onoogisibiranga abaweereza bo abawala ebasanyuse?
6Abavubi banaagiramuzanga?
Abasuubuzi banaagitemaatemanga okugitunda?
7Oyinza okugifumita effumu ne liyita mu ddiba lyayo?
Oba omutwe gwayo n'ogufumita emiwunda egiswaga ebyennyanja?
8Giteekeko omukono gwo, on'olaba,
Tolyerabira lutalo, tolikiddira.
9Okugiraba obulabi omuntu agwamu amaanyi,
Agwa bugwi ku ttaka.
10Tewali aba na buvumu bwa kusaggula goonya.
Kale aluwa oyo ayinza okuyimirira mu maaso gange?
11Ani eyasooka okumpa, nange mmusasule?
Byonna ebiri wansi w'eggulu byange.#Zab 24:1, Bar 11:35
12Siireme kwogera ku magulu gaayo,
Ne ku amaanyi gaayo,
ne ku nkula yaayo ennungi.
13Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky'okungulu?
Ani ayinza okugifumita n'ayita mu ddiba lyayo ery'embu ebbiri?
14Ani ayinza okwasamya akamwa kaayo?
Amannyo gaayo nga ga ntiisa!
15Amagalagamba gaayo ag'amaanyi ge gagyewuliza.
Gasibaganye ng'akabonero ak'envumbo.
16Erimu lyegatta linnaalyo,
Ne watasigala kaagaanya empewo weyinza okuyita.
17Geegatta ne gakwatagana,
Nga tegayinza gatayinzika kwawulibwa.
18Okwasimula kwayo, kuleeta ekitangaala.
N'amaaso gaayo gamyuka nga enjuba evaayo.
19Akamwa kaayo kavaamu emimuli egyaka,
Kabuukamu ensasi ez'omuliro.
20Mu nnyindo yaayo muvaamu omukka,
Ng'oguva mu ntamu etokota, ne mu kisaalu ekyaka.
21Omukka gw'essa gwasa amanda,
Era ennimi ez'omuliro ziva mu kamwa kaayo.
22Ensingo yaayo erimu amaanyi,
N'entiisa buli agya mu maaso gaayo.
23Emiwula gy'ennyama yaayo gye kutte,
Tegirebera.
tegisagasagana.
24Omutima gwayo mugumu ng'ejjinja;
Ddala mugumu ng'olubengo.
25Bw'esituka bweti, ab'amaanyi batya,
Beekanga ne babulwa eky'okukola.
26Bwe bagisimbako ekitala,
tekiriiko kye kiyinza kukola.
Effumu, omuwunda wadde akasaale tebisobola kugikolako kintu kyonna.
27Ekyuma kiringa kisasiro,
N'ekikomo kiringa omiti ogw'empumbu.
28Akasaale tekayinza kugiddusa.
Amayinja g'evuumuulo gaba nga bisusunku ku yo.
29Embuukuuli y'omuggo nayo ku yo kisusunku.
Esekerera amafumu ge bakasuka okugifumita.
30Amagalagamba g'oku lubuto lwayo gali ng'engyo ez'obwogi.
Bweyeekulula mu bitosi eba ng'ekyuma ekiwula.#Is 28:27; 41:15
31Bw'eyefubitika ennyanja esiikuula amazzi ne gaba ng'entamu etokota;
Efaananya ennyanja ng'akasaka omweserera omuzigo.
32Weeyise erekawo omukululo gw'amayengo ameeru.
Nefaananya obuziba okuba n'envi.
33Tewali kintu kigyenkana ku nsi,
Yatondebwa teriimu kutya.
34Enyooma buli kisolo eky'amalala.
Ye kabaka w'ensolo zonna ez'amalala.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.