Yobu 35
35
Eriku agenda mu maaso n'okwogera
1Awo Eriku n'addamu n'agamba nti,
2“Olowooza kituufu ggwe okugamba nti,
‘Siriiko musango mu maaso ga Katonda?’#Yob 32:2
3N'okubuuza n'obuuza Katonda nti,
‘Ekibi kyange kikukosa kitya? n'obutakola kibi bungasiza ki?’#Yob 34:9
4Nja kukuddamu,
Wamu ne mikwano gyo.#Yob 34:8,36
5Tunuulira eggulu, olabe.
Era tunuulira eggulu olabe ebire ebyewanise waggulu ennyo.#Yob 22:12
6Bw'oyonoona, omukolako kabi ki?
Ebibi byo bwe byeyongera obungi, bimukolako ki?#Yer 7:19, Nge 8:36
7Bw'obeera omutuukirivu oba omuyamba ki?
Oba kiki kya kufunako?#Yob 22:2,3; 41:11, Bar 11:35
8Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe.
N'ebirungi by'okola gwe biyamba.
9Olw'okujoogebwa okungi ennyo abantu bakaaba.
Bakaaba bafune abayamba okubalokola mu omukono ogw'ab'amaanyi.#Kuv 2:23, Yob 22:8; 34:28
10Naye tewali agamba nti, ‘Katonda Omutonzi wange ali ludda wa,
Asobozesa abantu okuyimba nga bali mu kaseera akazibu.#Ma 32:6, Zab 42:8; 77:6; 149:5, Is 51:13, Bik 16:25
11Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi,
Era atuwa amagezi okusinga ebinyonyi eby'omu bbanga.’#Is 28:26
12Kale bakaaba, naye Katonda tabaddamu,
Kubanga bamalala era babi.#Yob 27:9
13Mazima Katonda taawuliriza bigambo bitaliimu,
Omuyinza w'ebintu byonna tabissaako mwoyo.
14Kale olwo anaawulira atya bw'ogamba nti tomulaba?
Era bw'ogamba nti omusango gwo guli mu maaso ge, naawe omulindirira?#Yob 9:11; 13:15; 23:8,9
15Era kaakano oba nga tabonerezza na busungu bwe,
Era tassaayo nnyo omwoyo ku bibi,#Zab 89:32
16Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu nsa,
Ayongera kwogera bigambo byatamanyi.”#Yob 34:35,37; 38:2
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.