Ves al contingut

Yobu 26

26
Yobu ayanukula Birudaadi
1Awo Yobu n'addamu n'agamba nti,
2“Ng'oyambye omunafu ali nga nze!
Ng'olokodde ataliimu maanyi!
3Owadde amagezi atalina ky'amanyi,
Oyogedde bingi by'otegeera obulungi!
4Ani akuyambyeko okwogera obulungi bw'otyo?
Ebigambo ebyo obijje w'ani?
5Abaafa bakankana
Wansi w'amazzi n'ababeera omwo.#Zab 88:10
6Emagombe teri kikwekeddwa Katonda.
N'okuzikirira tekulina kikukweka.#Yob 28:22; 31:12, Zab 139:8, Nge 15:11, Is 14:9, Kub 9:11
7Abamba eggulu ery'omu bukiikakkono mu bbanga ejjereere,
Era awanika ensi awatali kigiwanirira.#Lub 1:2, Yob 9:8
8Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu;
Ne bitayulika olw'obuzito.#Nge 30:4
9Akweka entebe ye,
Ng'agibikkako ebire bye.#Yob 36:29
10Yassaawo enkulungo ku nnyanja,
Okwawula ekitangaala ku kizikiza.#Yob 38:8-11, Nge 8:29, Yer 5:22
11Empagi ez'eggulu zikankana
Bwakangamu okuzisaanyaawo.#Yob 9:6, Zab 75:3; 104:7
12Obuyinza bwe bukkakkanya ennyanja.
Olw'amagezi ge afumitira ekikulekule Lakabu.#Yob 9:13, Is 51:15, Yer 31:35
13Yafuuwa empewo neyerula Eggulu
Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.#Is 27:1, Yob 15:20; 20:29
14Naye ebyo katundu butundu ak'ebyo by'akola.
Era bye tumuwulirako bye bitono ddala.
Naye obuyinza bwe obw'amaanyi ani ayinza okubutegeera?”#Yob 4:12; 40:19