Yobu 22
22
Okwogera okwokusatu (22:1—25:6)
Erifaazi
1Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'agamba nti:
2Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Mazima ow'amagezi yeegasa yekka.#Yob 35:7
3Katonda alina kyaganyulwamu ggwe okubeera omutuukirivu?
Oba kimugasa ki ggwe okuba nga watukirira mu amakubo go?#Zab 18:32
4Kubanga omutya kyava akunenya,
Era kyava akuwozesa?#Yob 14:3
5Ebibi byo si bingi?
So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko kkomo
6Kubanga waggya ku baganda bo emisingo egy'obwereere,
N'obambula engoye zaabwe n'obaleka bwereere.#Kuv 22:26, Yob 24:3,9, Ez 18:12,16
7Abakooye tewabawanga mazzi kunywa.
Era wammanga abayala emmere.#Is 58:7, Mat 25:42
8Wakozesa amaanyi okutwala ettaka lyonna,
N'owaako abo bokka boyagala.
9Wegobako bannamwandu n'otobayamba.
Walumyanga ne bamulekwa, ng'obanyagako ebintu byabwe.#Yob 31:21, Is 10:2
10Obukunizo kyebuva bukwetooloola,
N'entiisa ne kujjira noweraliikirira.#Yob 18:8-11
11Ekizikiza kikubuutikidde toyinza kulaba,
Olinga abikiddwako amazzi amangi.#Yob 27:20, Zab 69:1, Kung 3:54, Yon 3:3,5
12Katonda ali waggulu mu ggulu.
Alaba emmunyeenye gye zeewanise.#Yob 11:8
13Naawe obuuza nti, “Katonda amanyi ki?
Ayinza okusala omusango ng'abikkiddwako ebire ebikutte ekizikiza?”#Zab 59:7, Is 29:15, Ez 8:12
14Olowooza nti ebire ebikwafu bimuziyiza okulaba,
Nga atambula ku kwekulungirira kw'eggulu.#Zab 139:11,12
15Oyagala okukwata ekkubo ery'edda
Abantu ababi lye batambulirangamu?
16Baafa entuuko zaabwe nga tezinnatuuka,
Ne baba ng'omusingi ogusaanyiziddwawo mukoka.
17Bano be bantu abaagambanga Katonda nti, “Tuveeko.”
Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukola ki?#Yob 21:14, Zab 4:6
18Sso ng'ennyumba zaabwe yazijjuza ebirungi.
Naye okuteesa kw'ababi sikukkiriza.#Yob 21:16
19Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka;
N'ataliiko musango abasekerera nnyo:#Zab 2:4; 52:6; 58:10
20Ng'agamba nti, “Mazima abalabe baffe bamaliddwawo,
N'abo abafisseewo omuliro gubasaanyizzawo.
21Tabagana ne Katonda obeere n'emirembe,
Olwo onoofuna ebirungi.#Nge 3:2
22Kkiriza by'ayigiriza,
Era okuume ebigambo bye mu mutima gwo.#Zab 119:11, Nge 2:6
23Weetoowaze okyuke odde eri Omuyinza w'ebintu byonna,
oggyewo ebibi byonna,
Ebikolebwa mu nnyumba yo.#Yob 8:5,6; 11:13,14, Yer 24:6, Mal 3:7
24Suula eby'obugagga bwo mu nfuufu,
Ne zaabu ow'e Ofiri mu mayinja ag'omu bugga,#1 Bassek 9:28
25Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo,
Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli.
26Kubanga Omuyinza w'ebintu byonna, alikuwa essanyu lingi,
Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda nga tolina ky'otya.#Yob 11:15, Zab 37:4, Is 58:14
27Onoomusabanga,
naye anaakuwuliranga.
Naawe onoosasulanga obweyamo bwo.#Yob 33:26, Zab 50:14,15, Is 58:9
28Era onoosalangawo eky'okukola n'okituukiriza.
Ekitangaala kinaabeeranga mu makubo go.#Nge 4:18
29Katonda asa wansi abamalala,
N'alokola eyeetoowaza.#Zab 138:6, Nge 3:34, Mat 23:12, Yak 4:6, 1 Peet 5:5
30Awonya omuntu ataliiko musango.
Kale anaakuwonyanga nga toliiko musango.”#Lub 18:26, Zab 18:20; 24:4; 26:6
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.