Ves al contingut

Yakobo 4

4
Okubeera mukwano gw'ensi
1Entalo ziva wa n'okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe?#Bar 7:21, 1 Peet 2:11 2Mwegomba so temulina, mutta, era mwegomba, so temuyinza kufuna, mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba. 3Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi, mulyoke mubikozese okwegomba kwammwe. 4Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng'omukwano gw'ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw'ayagala okubeera mukwano gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda.#Luk 6:26, Bar 8:7, 1 Yok 2:15 5Oba mulowooza ng'ekyawandiikibwa kyogerera bwereere nti, “Alina obuggya olw'Omwoyo gwe yatuuza mu ffe?” #Kuv 20:3,5, Mat 6:24, Bag 5:17 6Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti, “Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.”#Nge 3:34, Yob 22:29, Mat 23:12, 1 Peet 5:5 7Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.#Bef 6:12, 1 Peet 5:8,9 8Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.#Zek 1:3, Is 1:16 9Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe, okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essanyu lifuuke okunakuwala. 10Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama, naye alibagulumiza.#1 Peet 5:6
Obutasaliragana musango
11Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango amateeka, naye bw'osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango. 12Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza. Naye ggwe ani asalira munno omusango? #Mat 7:1, Bar 2:1; 14:4
Katonda yamanyi eby'omu maaso
13Kale nno mmwe aboogera nti, “Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tulimalayo omwaka gumu, tulitunda, tulifuna amagoba;”#Nge 27:1 14naye nga temutegeera bya nkya. Obulamu bwammwe buli nga ki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo.#Luk 12:20, Zab 39:5,11 15Mwandyogedde nti, “Mukama waffe bw'alyagala, tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.”#Bik 18:21 16Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe, okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi. 17Kale amanya ekirungi eky'okukola n'atakikola, eri oyo kiba kibi.#Luk 12:47, Bar 14:23