Ves al contingut

Koseya 11

11
Katonda ayagala abantu be
1Isiraeri bwe yali omwana omuto, n'amwagala, era okuva mu Misiri n'ayita mutabani wange.#Kuv 4:22, Ma 7:8, Kos 14:4, Mat 2:15 2Gye nakoma okubayita, bwe batyo n'abo gye bakoma okunvaako; baasigala baawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.#Kos 2:13; 13:1,2 3So nga yali nze eyayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaamanya nga nze n'abawonya.#Kuv 15:26, Ma 1:31, Kos 7:15 4Nabawalula n'emigwa egy'okusaasira, n'ebisiba eby'okwagala, era nabafuukira ng'oyo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, n'akutama ne mbaliisa.#Leev 26:13, Zab 78:24,29, Yer 31:3, Yok 6:44; 12:32 5Baliddayo mu nsi y'e Misiri; era Omwasuli ye aliba kabaka waabwe, kubanga baagaana okudda gye ndi.#2 Bassek 17:13,14 6Ekitala kirigwa ku bibuga byabwe, kirirya ebyuma by'enzigi zaabwe, era kiribamalawo mu bigo byabwe. 7Abantu bange bamaliridde okudda emabega okunvaako; beewaddeyo eri ekikoligo, era tewali alikibaggyako.#Kos 14:4 8Nnaakuvaamu ntya, ayi Efulayimu! Nnaakuwaayo ntya, ayi Isiraeri! Nnaakufuula ntya nga Aduma! Nnaakuyisa ntya Zeboyimu! Omutima gwange gunyikaala munda yange, okusaasira kwange kwa bbugumu ate kwa gonjebwa.#Lub 14:8; 19:24,25, Ma 32:36 9Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siriddayo kuzikiriza Efulayimu; kubanga ndi Katonda so siri muntu; nze Omutukuvu ndi wakati wo, sirijja ku kuzikiriza.#Leev 23:39-43, Ma 13:17, Is 12:6 10Balitambula okugoberera Mukama, era aliwuluguma ng'empologoma; ye, aliwuluguma, era batabani be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.#Is 31:4, Yer 25:30, Yo 3:16 11Balijja nga bakankana ng'ennyonyi eziva mu Misiri, era ng'ejjiba eriva mu nsi y'e Bwasuli, era ndibazzaayo mu nnyumba zaabwe, bw'ayogera Mukama.#Is 60:8, Zek 10:6,10
12Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa, naye Yuda akyamanyiddwa Katonda, era akyali mwesigwa eri Omutukuvu.