Abaebbulaniya 2
2
1Kyekivudde kitugwanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si ku lwa nga tuwaba ne tubivaako. 2Kuba oba ng'ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyanywera, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ebisaanira, #Bik 7:38,53, Bag 3:19 3ffe tuliwona tutya bwe tulagajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obwo obwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bututegeerezebwa ddala abaabuwulira;#Beb 10:29; 12:25 4era Katonda n'akakasiza ddala bye baayogeranga mu bubonero ne mu by'ekitalo ne mu by'amagero ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, bye yagaba nga bwe yayagala. #Mak 16:20, 1 Kol 12:4,11
5Kubanga bamalayika si be bagenda okufuga ensi egenda okubaawo, gye twogerako. 6Waliwo ekifo mu byawandiikibwa omu we yategeereza, ng'ayogera nti,
“Omuntu kye ki, ggwe okumujjukira?
Oba omwana w'omuntu, ye ani ggwe okumujjira?#Zab 8:4-6
7Wamussa akaseera katono obuteenkana nga bamalayika;
Wamussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo,
N'omufuza emirimu egy'emikono gyo:
8Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye.”
Bwe yateeka ebintu byonna wansi we, tewali kintu kyonna kyatamuwa kufuga. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we.#1 Kol 15:27 9Naye tulaba Yesu, eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw'ekisa kya Katonda yabonaabona n'afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n'alyoka atikirwa engule ey'ekitiibwa n'ettendo. #Baf 2:8,9 10N'olwekyo kyasaanira nti ye, ku bubwe era mu ye ebintu byonna mwe bibeererawo, olw'okuleeta abaana abangi mu kitiibwa, asooke okutuukiriza obulokozi bwabwe ng'ayita mu kubonaabona. #Bar 11:36 11Kubanga oyo atukuza era n'abo abaatukuzibwa bava mu omu bonna, kyava takwatibwa nsonyi kubayita baganda be.#Mak 3:34,35, Mat 25:40, Yok 20:17 12ng'ayogera nti,
“Ndibuulira baganda bange erinnya lyo,
Ndikutenderereza wakati mu kkuŋŋaaniro.”#Zab 22:22
13Era awalala agamba nti,
“Nze nnaamwesiganga oyo.”
Era ne yeyongera n'agamba nti,
“Laba nze n'abaana Katonda be yampa.”#Is 8:17,18, 2 Sam 22:3
14Olw'okubanga abaana balina omubiri n'omusaayi, naye yalina omubiri n'omusaayi, nga ayita mu kufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani;#2 Tim 1:10, Yok 12:31, Kub 12:10, 1 Kol 15:56 15era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa. 16Kubanga mazima bamalayika si b'ayamba, naye ayamba zzadde lya Ibulayimu.#Beb 4:15 17Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda olw'okutangirira ebibi by'abantu. 18Kubanga ye yennyini yabonaabona ng'akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.#Beb 4:15
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.