Abaggalatiya 1
1
Okulabula
(1:1-9)
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo omutume, ataabufuna kuva mu bantu wadde okuyita mu muntu, wabula okuva eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu,#1:11,12 2n'ab'oluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez'e Ggalatiya. 3Ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo,#Bar 1:7 4eyeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi ng'okwagala kwa Katonda era Kitaffe bwe kuli,#Bag 2:20, 1 Tim 2:6, Tit 2:14, 1 Yok 5:19 5aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
Pawulo yeewuunya aba Ggalatiya okuva ku mazima amangu
6Nneewuunya kubanga muvudde mangu ku oyo, eyabayita mu kisa kya Kristo okugoberera enjiri endala, 7si kuba nti waliwo enjiri endala, wabula mwatawanyizibwa abantu abamu, abaagala okukyusiza ddala Enjiri ya Kristo.#Bik 15:1,24 8Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga.#1 Kol 16:22 9Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo ne kaakano nkiddamu nti, Omuntu bw'ababuuliranga enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza, akolimirwenga.
Obutume bwa Pawulo n'Enjiri
(1:10—2:21)
Enjira ya Pawulo yava wa Kristo
10Nkolerera kusiimibwa bantu, nantiki Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nga nkyali mu kusanyusa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo.#1 Bas 2:4
11Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti Enjiri gye nnababuulira, si ya buntu, 12kubanga nange ssaagiweebwa muntu wadde okuyigirizibwa omuntu, wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. 13Kubanga mwawulira nga bwe nnali edda mu ddiini y'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda nga ngezaako okugizikiriza. #Bik 26:4-20 14ne mpitirizanga mu ddiini y'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange.#Bik 22:3 15Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye,#Bar 1:1, Yer 1:5, Is 49:1 16n'ambikkulira Omwana we, ndyoke mmubuulirenga mu b'amawanga; sseebuuza ku muntu n'omu, #Bag 2:7, Mat 16:17 17so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume, naye n'agenda mu Buwalabu, oluvannyuma ne nkomawo mu Ddamasiko.
18Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano (15).#Bik 9:26 19Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.#Mat 13:55 20Kale, bye mpandiika, si bya bulimba mu maaso ga Katonda. 21Awo bwe n'avaayo ne ŋŋenda mu bitundu bye Busuuli ne Kirukiya.#Bik 9:30 22Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinantegeera, 23naye ne bawuliranga buwulizi nti, “Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza,” 24ne bagulumiza Katonda ku lwange.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.