Danyeri 12
12
1“Era mu kiseera ekyo Mikayiri, omulangira omukulu, omukuumi w'abantu abo alirabika. Walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu kiseera ekyo buli muntu aliba nga yawandiikibwa mu kitabo, aliwonyezebwa.#Kuv 32:32,33, Dan 10:13, Yo 2:2, Mak 13:19, Luk 10:20, Kub 16:18; 20:12 2Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera.#Zab 17:15, Is 26:19, Ez 37:1-10, Mat 25:46, Yok 5:28,29; 11:11, Bik 24:15, Kub 20:13 3N'abo abalina amagezi balyakaayakana ng'okumasamasa okw'omu bbanga: n'abo abaakyusa abangi eri obutuukirivu ng'emmunyeenye emirembe n'emirembe.#Dan 11:33, Mat 13:43 4Naye ggwe, Danyeri, kuuma ebigambo bino nga bya kyama, ssa akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero. Bangi balidduuka nga badda eno n'eri, n'okumanya kulyeyongera.”#Is 8:16; 29:11, Dan 8:17,26, Kub 22:10
5Awo nze Danyeri, ne ndyoka ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri. 6N'omu ku bo n'abuuza omusajja eyali ayambadde olugoye lwa bafuta, nga ayimiridde waggulu w'amazzi g'omugga, nti, “Eby'ekitalo ebyo birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?”#Ez 9:2, Dan 8:13; 10:5 7Ne mpulira omusajja oyo eyali ayambadde bafuta, nga ayimiridde waggulu ku mazzi g'omugga, ng'agolola waggulu emikono gye gyombi, eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti, ekiseera n'ebiseera n'ekitundu kye kiseera. Bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.#Lub 14:22, Dan 7:25; 8:24, Luk 21:24, Kub 10:6 8Ne mpulira by'ayogedde, naye ne sibitegeera, ne ndyoka mubuuza nti, “Ayi Mukama wange, kiki ekiriva mu ebyo byonna?” 9N'addamu nti, “Kwata amakubo go Danyeri ogende, kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero. 10Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abalitukuzibwa; naye ababi balyeyongera okukola ebibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abo abalina amagezi balitegeera.#Dan 11:33,35, Kub 22:11 11Era okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekizikiriza, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda (1,290).#Dan 11:31, Mak 13:14 12Alina omukisa alindirira n'atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano (1,335).#Mat 10:22, Yak 1:12; 5:11 13Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo. Ojja kufa, naye olifuna omugabo gwo, mu kiseera eky'oluvannyuma.”#Mat 13:39, Kub 6:11
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.