Ves al contingut

Danyeri 1

1
Ebyatuuka ku Danyeri ne banne abasatu e Babbulooni
(1:1—6:28)
Danyeri ne Banne mu Lubiri e Babbulooni
1Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ajja e Yerusaalemi, n'akizingiza.#2 Bassek 24:1,2 2Mukama n'awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n'ebintu ebimu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'abitwala mu nsi y'e Sinaali n'abiteeka mu ggwanika ery'omu ssabo lya katonda we.#2 Bassek 24:13, Ezer 5:14, Dan 5:2 3Kabaka n'alagira Asupenaazi omukulu w'abalaawe be, alonde mu ba Isiraeri abawambe, abamu ku balenzi ab'olulyo olulangira, n'abamu ku batabani b'abakungu:#2 Bassek 20:18 4abavubuka abataaliko bulema, abalabika obulungi, abagezi, era abangu okuyigirizibwa, era abakabakaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka, abayigirize amagezi ag'Abakaludaaya n'olulimi lwabwe. 5Kabaka n'abalagira baweebwenga buli lunaku ku mmere ya kabaka, ne ku mwenge gwe yanywanga, babaliisenga bwe batyo okumala emyaka esatu, bwe giriggwaako balyoke bagende baweereze kabaka. 6Mu abo abaalondebwa mwe mwali Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya, bonna baali ba mu kika kya Yuda. 7Omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya amaggya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza, Kananiya n'amutuuma Saddulaaki, Misayeri n'amutuuma Mesaki ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego.#2 Bassek 23:34; 24:17, Dan 3:12 8Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga ng'alya ku mmere, era ng'anywa ku mwenge ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n'asaba Asupenaazi amukirize aleme okweyonoonyesanga. 9Ne Katonda n'awa Danyeri okwagalibwa n'okusaasirwa Asupenaazi omukulu w'abalaawe ba kabaka.#Lub 39:21, Es 2:9, Zab 106:46, Nge 16:7 10Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga. Singa anaabalaba nga mukozze, nga temulabika bulungi nga abavubuka bannammwe abalala, kabaka ayinza okunzita.” 11Awo Danyeri n'agamba omusigire, omukulu w'abalaawe gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya nti, 12“Nkwegayiridde otugezese okumala ennaku kkumi, nga otuwa enva endiirwa n'amazzi ag'okunywa byokka.#Kub 2:10 13N'oluvannyuma otugerageranye n'abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke osalewo eky'okukola ng'osinzira ku ndabika gye tuliba tulabikamu.” 14Awo omusigire n'akkiriza okubagezesa okumala ennaku kkumi nga bwe bamusaba. 15Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali balabika bulungi, era nga bagezze okusinga abavubuka abalala bonna abaalyanga ku mmere ya kabaka. 16Awo omusigire n'abaggya ku emmere ne ku mwenge gwe bandibadde banywa, n'abawa nva ndiirwa zokka. 17Abavubuka abo abana, Katonda n'abawa amagezi n'okutegeera eby'okuyiga bye baali bayigirizibwa byonna: Danyeri n'asukkirira mu kutegeeranga okwolesebwa okw'engeri zonna, n'okuvvuunulanga ebirooto.#Dan 2:23; 5:12, Yak 1:5 18Awo ekiseera kabaka Nebukadduneeza kye yalagira baleetebwe mu maaso ge, bwe kyatuuka, omukulu w'abalaawe n'abamwanjulira. 19Kabaka n'anyumya nabo, era mu bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya: kyebaava bafuulibwa abaweereza ba kabaka. 20Mu buli kigambo eky'amagezi n'eky'okutegeera, kabaka kye yababuuza, yabalaba nga basinga emirundi kkumi (10) abasawo n'abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna.#Lub 41:24, Dan 2:27 21Awo Danyeri n'asigala mu lubiri lwa kabaka okutuusa mu mwaka ogwolubereberye ogwa kabaka Kuulo.#Is 44:28; 45:1, Dan 6:28; 10:1