Amosi 5
5
Isiraeri erina okwenenya
1Muwulire ebigambo bino eby'ennaku bye nnyimba okubakungubagira, ayi ennyumba ya Isiraeri.#Ez 19:1 2“Isiraeri omuwala embeerera agudde, taliddayo kuyimuka. Agudde wansi mu nsi ye, talina wa kumuyimusa.”#Kung 2:1 3Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga ky'omu Isiraeri ekyasindikanga abalwanyi olukumi (1,000) mu lutalo kirisigazaawo kikumi (100), n'ekyo ekyasindikanga ekikumi (100) kirisigazaawo kkumi (10) bokka.” 4Bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti, “Munnoonye, kale munaabanga balamu#2 Byom 15:3, Zef 2:3 5Naye temugenda Beseri kusinza, so temuyingiranga mu Girugaali, oba okunnonyeza e Beeruseba: kubanga abantu be Girugaali balitwalibwa mu busibe, ne Beseri kirisanyizibwawo ddala.”#Am 4:4; 8:14 6Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu, aleme okubuubuuka ng'omuliro ku nnyumba ya Yusufu, ne gugyokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri. 7Zibasanze mmwe, abatasala mazima, ne musuula wansi obutuukirivu, 8munoonye oyo eyakola emmunyeenye zi kakaaga n'entungalugoye, afuula ekizikiza okuba omusana, afuula obudde obw'emisana ne bufuuka ekiro. Ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agayiwa ku lukalu. Mukama lye linnya lye.#Yob 9:9; 38:31, Zab 104:6,7,20, Am 4:13; 9:6 9Mu bwangu obwe kitalo, era awatali kulabula azikiriza ab'amaanyi wamu n'ebigo byabwe. 10Mukyawa oyo alamula mu bwenkanya, era mutamwa oyo ayogera amazima.#Luus 4:1, 1 Bassek 22:8, Is 29:21 11Kale nga bwe munyigiriza abaavu, ne mubanyagako eŋŋaano yaabwe, amayumba ag'amayinja amateme ge muzimbye temuligabeeramu, era n'emizabbibu emirungi gye musimbye temulinywa ku mwenge gwagyo.#Ma 28:30,39, Yak 2:6 12Mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'emisango gye muzzizza bwe gyenkana obunene. Muyigganya abatuukirivu, mulya enguzi, era temusala misango gy'abaavu mu bwenkanya.#1 Sam 8:3; 12:3, Am 2:7 13Omugezi kyava asirika mu biseera ebifaanana bwe biti, kubanga biseera bibi.#Mi 2:3 14Mufube okukola ebirungi, sso si ebibi, lwe munaabeera abalamu, olwo, Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe, nga bwe mugamba nti ali nammwe.#Ma 30:15,19 15Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, musalenga amazima mu mbuga zammwe, oboolyawo Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo.#Yo 2:14, Bar 12:9 16N'olwekyo Mukama Katonda ow'eggye, Mukama, agamba bw'ati, “Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nguudo, era baligenda baaziirana mu makubo gonna nti, ‘Woowe, woowe!’ Baliyita omulimi okukuba ebiwoobe awamu n'abo abapangisibwa okukungubagira abafu.#Yer 9:17,18 17Walibaawo okukuba ebiwoobe mu nsuku zonna ez'emizabbibu, kubanga njija okubabonereza mmwe,” bw'ayogera Mukama.#Kuv 12:12 18Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? Kizikiza so si musana.#Yo 1:15; 2:1,2 19Olunaku lulibeera ng'omusajja adduka empologoma ate n'asisinkana eddubu, oba ng'omuntu bw'ayingira mu nnyumba n'akwata ku kisenge omusota ne gumubojja#Is 24:18 20Olunaku lwa Mukama luliba lwa kizikiza, sso si lwa kitangaala, luliba lwa kizikiza ekikute omutali katangaala konna. 21“Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu.#Zab 51:16, Is 1:11,14 22Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, sijja kubikkiriza, era sisanyukira nsolo zammwe ezassava ze muwaayo. 23Munzigyeeko oluyoogaano olw'ennyimba zammwe, sijja kuwuliriza maloboozi ga nnanga zammwe.#Am 8:3 24Kale muleke amazima gakulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogujjula ne gubooga. 25Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ddungu mu myaka ana (40) gyonna?#Bik 7:42,43 26Naye kaakano nga bwe musinza ebifaananyi bye mwekolera ebya Sikusi, ne Kiyuni, n'emmunyeenye nga be ba katonda bammwe, ebyo bye muba mutwala.#Ma 32:17 27N'olwekyo nja kubatwala mu busibe eyo okuyisa e Ddamasiko.” Bw'atyo bw'ayogera Mukama. Erinnya lye Katonda ow'eggye.#2 Bassek 16:6
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.