Ves al contingut

Amosi 1

1
Ennyanjula (1:1)
1Bino bye bigambo Mukama bye yabikkulira Amosi eyali omu ku basumba b'e Tekowa, nga bifa ku Isiraeri mu kiseera kyo bufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu bufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri, ng'ekyabulayo emyaka ebiri okutuuka ku kukankana kw'ensi.#2 Bassek 14:23, 2 Byom 26:1,3, Kos 1:1, Am 7:10,14,15, Zek 14:5
Obubaka obutegeeza Isiraeri omusango (1:2—6:14)
2Amosi n'agamba nti, “Mukama awulugumira ku Lusozi Sayuuni, era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi. Amalundiro gakala n'omuddo ku ntikko y'Olusozi Kalumeeri guwotoka.”#Yo 3:16
3Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ddamasiko, bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza. Baabonyaabonyeezza abantu b'e Gireyaadi nga baabasalasala n'ebyuma.#2 Bassek 10:33, Nge 30:18, Is 8:4 4Kale ndiweereza omuliro ku lubiri lwa kabaka waabwe Kazayeeri, era gulyokya n'ebigo bya kabaka Benukadadi.#2 Bassek 13:24,25, Yer 49:27 5Ndimenya aguuma agasiba enzigi z'ekibuga Ddamasiko, era n'abantu abamu balisalibwako okutuukira ddala mu kiwonvu kye Aveni, n'oyo akwata omuggo gw'obwakabaka ndimumalawo okuva mu nnyumba ya Besi-Edeni. Abantu b'e Busuuli balitwalibwa mu busibe e Kiri, bwatyo bw'ayogera Mukama.”
6Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Gaza bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga batwala abantu ab'omu ggwanga lyonna nga basibe, ne babatunda mu Edomu.#2 Byom 28:17,18, Yer 47:1,5, Yo 3:4-6, Zef 2:4 7Kale ndiweereza omuliro ku bbugwe we kibuga Gaza, ne gwokya amayumba gaakyo. 8Ndimalawo abafuzi b'omu bibuga Asudodi ne Asukulooni. Ndibonereza ekibuga Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bwatyo bw'ayogera Mukama Katonda.”
9Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Ttuulo bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga baawaayo eggwanga lyonna nga basibe eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'ab'oluganda eyali ekoleddwa. 10Kale ndiweereza omuliro ku bbugwe we kibuga Ttuulo, gwokye amayumba gaakyo.”
11Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Edomu bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga bayigganyanga baganda baabwe aba Isiraeri ne babatta awatali kusaasira n'akatono. Obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma, ne batabusalako.#Zab 137:7, Ez 35:5, Yo 3:19#1:11 Baganda baabwe Abaisiraeri bava mu Yakobo ate Abedomu bava mu Esawu muganda wa Yakobo (Lub 25:24-26). 12Kale ndiweereza omuliro ku kibuga Temani, era gulyokya amayumba g'e Bozula.”
13Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Abantu b'omu Amoni bakoze ebibi emirundi n'emirundi, siireme kubabonereza, kubanga mu ntalo ze baalwana okugaziya ensi yaabwe, baabaaga abakazi abali embuto ab'e Giriyaadi.#Yer 49:1-3, Kos 13:16, Zef 2:8,9 14Kale ndikuma omuliro mu bbugwe we kibuga Labba, era gulyokya amayumba gaakyo. Walibaawo okuleekaana ku lunaku olw'olutalo, era okulwana kuliwuuma nga kibuyaga.#Ez 21:20,28 15Kabaka waabwe alitwalibwa wamu n'abakungu be mu busibe, bwatyo bw'ayogera Mukama.”