Ves al contingut

2 Samwiri 8

8
Entalo Dawudi zeyawangula
1Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula; n'abawambako ekibuga Mesegamma.#1 Byom 8:1 2Awo n'awangula Abamowaabu, n'abagalamiza wansi mu nnyiriri ssatu (3), n'attako ennyiriri bbiri (2) n'alekawo lumu. Awo Abamowaabu ne baba baweereza ba Dawudi ne bamuwanga emisolo.#Kubal 24:17 3Era Dawudi n'awangula ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yali agenda okujeemulula amatwale ge agali waggulu w'omugga Fulaati. 4Dawudi n'amuwambako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu (1,700), n'abatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), embalaasi zonna ezisika amagaali Dawudi n'azitema enteega, naye neyerekerawo ez'amagaali kikumi (100). 5Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000)#1 Sam 14:47, 2 Sam 10:6,16,19, 1 Bassek 11:23-25 6Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga. 7Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi.#2 Bassek 11:10 8Nnaggya ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, ebikomo bingi nnyo. 9Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri,#Kubal 34:8 10n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amuwangula; kubanga yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo; 11n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu bye yali aggye ku mawanga ge yawangula;#1 Bassek 7:51; 8:65, 1 Byom 26:26 12okuva mu Busuuli, Mowaabu, Abaana ba Amoni, Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba.#2 Sam 5:17-25; 12:30 13Dawudi n'ayatikirira n'eyegulira erinnya. Bwe yakomawo n'atta aba Edomu omutwalo gumu mu kanaana (18,000) mu Kiwonvu eky'Omunnyo. 14N'ateeka ebigo okubuna Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga okuwangula buli gye yagendanga.#Lub 25:23; 27:29,37,40, Kubal 24:18, 1 Bassek 11:15
15Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; Dawudi n'alamula abantu be mu mazima n'obwenkanya. 16Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza;#2 Sam 20:23-26, 1 Bassek 4:3, 1 Byom 11:6 17Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Seroya ye yali omuwandiisi;#2 Sam 15:24, 1 Bassek 4:4, 1 Byom 24:3,6 18Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi baali bakabona.#2 Sam 3:2-5; 5:13-16; 15:18; 23:20-23, 1 Bassek 1:38; 4:4,5