Ves al contingut

2 Samwiri 5

5
Dawudi afuuka kabaka wa Isiraeri ne Yuda
1Awo ebika byonna ebya Isiraeri ne bajja eri Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Tuli ba luganda era ba musaayi gumu naawe.#1 Byom 11:1-3, Lub 29:14, 2 Sam 19:12-13 2Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wakulemberanga Isiraeri mu ntalo. Mukama n'akugamba nti, ‘Ggwe onookulemberanga abantu bange Isiraeri, era onoobanga mufuzi wa Isiraeri.’ ”#1 Sam 10:1; 18:13, 2 Sam 7:7,8, Zab 78:71,72, Mat 2:6 3Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama; ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.#1 Sam 5:3 1 Sam 23:18, 2 Sam 2:4; 3:21, 2 Bassek 11:17
4Dawudi weeyafuukira kabaka yali awezezza emyaka asatu (30), n'afugira emyaka ana (40).#2 Sam 2:11, 1 Bassek 2:11, 1 Byom 3:4; 29:27 5Yafugira Yuda e Kebbulooni okumala emyaka musanvu (7), n'emyezi mukaaga (6), n'afugira Isiraeri yenna ne Yuda mu Yerusaalemi okumala emyaka asatu mu esatu (33). 6Awo Dawudi n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi abatuuze baayo. Abayebusi abo ne balowooza nti Dawudi tayinza kuwangula n'ayingira ekibuga ekyo. Kye baava bamugamba nti, “Toliyingira mu kibuga kino kubanga bamuzibe n'abalema basobola okukuziyiza.”#1 Byom 11:4-9, Yos 15:63, Balam 1:21; 19:10,11 7Kyokka Dawudi n'awamba ekigo eky'e Sayuuni; ne kifuuka ekibuga kya Dawudi.#2 Sam 6:12,16, 1 Bassek 2:10; 8:1; 11:27, 2 Byom 32:5 8Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti, “Buli anatta Abayebusi, ayambukire mu mukutu gw'amazzi atte abazibe b'amaaso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi bekyawa.” Kyebaava boogera nti, “Waliwo abazibe b'amaaso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.” 9Dawudi bwe yamala okuwamba ekigo n'akituuma erinnya “Ekibuga kya Dawudi” era n'azimba okukyetooloola okuva e Miiro n'okudda munda. 10Awo Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, yali naye.#1 Sam 17:45, Zab 89:8
11Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka n'amuweereza emivule, ababazzi n'abazimbi b'amayinja ne bazimbira Dawudi ennyumba.#1 Byom 14:1-16, 1 Bassek 5:1 12Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Isiraeri.
13Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni; Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.#2 Sam 3:2-5, 1 Byom 3:9 14Gano ge mannya g'abaana Dawudi be yazaalira e Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu ne Nasani ne Sulemaani,#1 Byom 3:5-8, 2 Sam 12:24, Luk 3:31 15ne Ibali ne Eriswa; ne Nefegi ne Yafiya; 16ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti.
Abafirisuuti bawangulwa
17Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Dawudi bamaze okumufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; naye Dawudi n'akiwulira ne yeekweka mu mpuku.#1 Sam 22:4-5, 2 Sam 23:4 18Awo Abafirisuuti baali bazze nga babunye mu kiwonvu Lefayimu.#Yos 15:8; 18:16, 2 Sam 23:13 19Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti, “Nnyambuke eri Abafirisuuti? On'obagabula mu mukono gwange?” Mukama n'agamba Dawudi nti, “Yambuka; kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.”#2 Sam 2:1 20Dawudi n'ajja e Baalu-perazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gawaguzza ne gaanjaala. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baaluperazimu.#5:20 Baaluperazimu mu Lwebbulaniya kitegeeza Mukama amenya.#Is 28:21 21Abafirisuuti bwe badduka, baalekayo ebifaananyi byabwe ebisinzibwa, Dawudi ne basajja be ne babitwala.
22Awo Abafirisuuti ne balumba nate omulundi ogwokubiri ne babuna mu kiwonvu Lefayimu. 23Era Dawudi n'addamu okubuuza Mukama. Mukama n'amuddamu nti, “Tobalumbira wano; weetooloole odde emabega waabwe obalumbe ng'osinziira mu maaso g'emitugunda.#1 Sam 23:2 24Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka obalumba kubanga nze Mukama nnaaba nkulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafirisuuti.”#2 Bassek 7:6 25Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira, era n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa e Gezeri.