2 Samwiri 24
24
Dawudi abala abantu
(1 Byom 21:1-27)
1Awo Mukama nate n'asunguwalira Isiraeri, n'apikiriza Dawudi agende abale abantu ba Isiraeri n'aba Yuda.#1 Sam 26:19, Yak 1:13 2Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti, “Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gwabwe.”#2 Sam 3:10 3Yowaabu n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe; wabula mukama wange kabaka lwaki asanyukira ekintu ekyo?”#Ma 1:11 4Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ekya Yowaabu n'abakulu b'eggye. Awo Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka ne bagenda okubala abantu ba Isiraeri.#1 Byom 27:24 5Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yezeeri;#Kubal 32:1, Yos 13:9 6ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimu-kodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni, 7ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani; ne bamalira ku bukiikaddyo obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba.#Yos 19:29, Balam 3:3 8Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bakomawo e Yerusaalemi nga wayise emyezi mwenda n'ennaku abiri. 9Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu be babala: mu Isiraeri mwalimu abasajja abazira abayinza okulwana obusiriivu munaana (800,000), ne mu Yuda obusiriivu butaano (500,000).
10Awo Dawudi bwe yamala okubala abantu, omwoyo gwe ne gumuluma. Dawudi n'agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze, naye kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, sonyiwa obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo.”#1 Sam 24:5, 2 Sam 12:13 11Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'akyogera nti,#1 Sam 9:9; 22:5 12“Genda ogambe Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkutereddewo ebintu bisatu; weerobozeeko ekimu kyemba nkukola.’ ” 13Gaadi n'agenda eri Dawudi n'amubuulira, n'amugamba nti, “Ku bisatu olondako kiruwa? Enjala okugwa mu nsi yo okumala emyaka musanvu (7), oba ggwe okumala emyezi esatu (3) ng'odduka abalabe bo abakuyigganya, oba okugwirwa kawumpuli mu nsi yo okumala ennaku ssatu (3)? Lowooza olondeeko kye nnaddiza oyo antumye.”#Lub 41:27, 2 Sam 21:1, 2 Bassek 8:1
14Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri nno tugwe mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy'abantu.”#Zab 103:8, Kung 3:22,23 15Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo; awo ku bantu ne kufaako abasajja emitwalo musanvu (70,000) okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba.#2 Sam 24:2, 1 Byom 27:24 16Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti, “Kinaamala.” Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.#Kuv 12:23, 2 Bassek 19:35, 2 Byom 3:1, Yo 2:13, Yon 3:10 17Awo Dawudi bwe yalaba malayika eyali atta n'agamba Mukama nti, “Nze nnyonoonye ne nkola eby'obubambaavu; naye abantu bano bbo bakoze ki? Nkwegayiridde bonereza nze n'abennyumba ya kitange.”#Zab 74:1
18Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi ku lunaku olwo n'amugamba nti, “Genda ozimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.”#2 Byom 3:1 19Awo Dawudi n'agenda nga Mukama bwe yalagira nga ayita mu Nnabbi Gaadi. 20Awo Alawuna n'alengera kabaka n'abaddu be nga bajja gyali. Alawuna n'afuluma n'avuunamira kabaka. 21Awo Alawuna n'abuuza nti, “Kiki ekireese Mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n'agamba nti, “Ekindeese njagala onguze egguuliro lyo, nzimbire mu Mukama ekyoto. Kawumpuli aziyizibwe mu bantu.”#Kubal 16:48,50 22Awo Alawuna n'agamba Dawudi nti, “Mukama wange, kabaka, twala oweeyo eri Mukama buli ky'olaba nga kirungi. Ente ziizino, zibe ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebiwuula era n'amatandiiko g'ente bibeere enku.#1 Bassek 19:21 23Bino byonna, ayi kabaka, Alawuna abiwa kabaka.” Alawuna n'agamba kabaka nti, “Mukama Katonda wo akkirize ekiweebwayo kyo.”#Lub 23:11, Zab 20:3 24Kabaka n'agamba Alawuna nti, “Nedda. Nja kubikugulako buguzi, omuwendo gw'onoolamula. Sijja kuwaayo eri Mukama Katonda wange ebiweebwayo ebyokebwa bye siguze.” Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ezo ku muwendo gwa bitundu bya ffeeza ataano (50). 25Awo Dawudi n'azimbira Mukama ekyoto, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Mukama n'awulira Dawudi byeyasabira ensi, kawumpuli n'aziyizibwa.#Kubal 16:48,50, 2 Sam 21:14
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.