2 Samwiri 21
21
Ebisembayo
(21:1—24:25)
Ab'omu nnyumba ya Sawulo battibwa
1Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi okumala emyaka esatu (3) egiddiriraŋŋana; Dawudi ne yeebuuza ku Mukama. Kino kize lwa Sawulo ne nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga Sawulo yatta Abagibyoni.#Kos 5:15 2Kabaka n'ayita Abagibyoni n'ayogera nabo. Abagibyoni tebaali ba Isiraeri wabula Abamoli abasigalawo, Abaisiraeri baali bakoze nabo endagaano obutabatta; naye Sawulo olw'okulumirwa Abaisiraeri ne Yuda n'ayagala okubatta.#Yos 9:3-17 3Dawudi n'abuuza Abagibyoni nti, “Kiki kyemba mbakolera era mutango ki gwemba mbawa mulyoke musabire abantu ba Katonda omukisa?”#1 Sam 26:19 4Awo Abagibyoni ne bamuddamu nti, “Oluyombo lwaffe ne Sawulo n'ab'omu nnyumba ye, teruyinza kuliyirirwa na ffeeza oba na zaabu; so tetwagala muntu yenna mu Isiraeri kuttibwa ku lwaffe.” Dawudi n'abagamba nti, “Kati mugamba ki kyemba mbakolera?” 5Ne bagamba kabaka nti, “Omusajja eyatusalira amagezi okutuzikiriza tuleme kubeera na kifo kyonna mu Isiraeri; 6batuwe abasajja musanvu (7) ku batabani be, tubawanikire mu maaso ga Mukama e Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama.” Kabaka n'ayogera nti, “Ndibawaayo.”#Kubal 25:4, 1 Sam 10:24,26; 11:4 7Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo kyebalayiragana mu maaso ga Mukama.#1 Sam 20:15,16,42; 23:18, 2 Sam 9:7 8Naye kabaka n'alondamu Alumoni ne Mefibosesi batabani ba Lizupa muwala wa Aya be yazaalira Sawulo; Alumoni ne Mefibosesi; ne batabani ba Merabu muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi;#1 Sam 18:19, 2 Sam 3:7 9n'abawaayo eri Abagibyoni, ne babawanika mu maaso ga Mukama ku lusozi, bonna omusanvu (7) ne bafiira wamu. Battibwa mu nnaku z'amakungula ezisooka, we batandikira okukungula sayiri. 10Awo Lizupa muwala wa Aya, n'atwala ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku ntandikwa y'amakungula, okutuusa enkuba lwe yatandika okutonnya n'ekuba emirambo egyo. Emisana n'ekiro n'atakkiriza binyonyi wadde ebisolo okugirya. 11Ne babuulira Dawudi ebyo Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakola. 12Dawudi n'agenda n'aggya amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we ku basajja ab'e Yabesugireyaadi, abaali bagabbye mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye baagawanikira ku lunaku Abafirisuuti kwe battira Sawulo e Girubowa;#1 Sam 31:10-13, 2 Sam 2:4 13n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we; ne bakuŋŋaanya na magumba g'abo abaawanikibwa. 14Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe; ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda n'ayanukula okusaba kw'Abagibyoni kwe basabira ensi.#2 Sam 24:25, Zab 48:1; 96:4
Entalo n'Abafirisuuti
15Awo Abafirisuuti ne baddamu okulwana ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be okulwana n'Abafirisuuti; Dawudi n'akoowa nnyo. 16Awo Isubibenobu omu ku baana b'erissajja eriwagguufu nga alina effumu ery'ekikomo erizitowa sekeri bisatu (300), era nga yeesibye ekitala ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi. 17Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amudduukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti, “Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.”#2 Sam 18:2,3, 1 Bassek 11:36; 15:4
18Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu omu ku baana be ssajja liri eriwagguufu. 19Awo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu; awo Erukanani mutabani wa Yaale-olegimu Omubesirekemu n'atta Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋaanga omuti ogulukirwako engoye.#1 Sam 17:7, 2 Sam 23:24 20Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga (6) ku buli mukono n'obugere omukaaga (6) ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina (24), era naye yali mutabani we ssajja liri eriwagguufu. 21Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi muganda wa Dawudi n'amutta.#1 Sam 17:10 22Abo abaana be baali baana be ssajja liri eriwagguufu ery'e Gaasi; ne battibwa Dawudi n'abaddu be.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.