Ves al contingut

2 Samwiri 17

17
Kusaayi awabya Abusaalomu
1Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti, “Ka nnonde nno abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000) ŋŋende mpondere Dawudi ekiro kino. 2Nja kumutuukako ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka.#2 Sam 16:14, 1 Bassek 22:31, Yok 11:50 3Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.” 4Okuteesa okwo Abusaalomu n'akusiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna.
5Awo Abusaalomu n'ayogera nti, “Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire naye ky'agamba.”#2 Sam 15:34 6Kusaayi bwe yajja eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti, “Akisoferi atugambye bw'ati ne bw'ati. Tukole nga bw'agambye? Oba si kyo gwe ogamba otya?” 7Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti, “Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi.” 8Era nate Kusaayi n'amugamba nti, “Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, nga obw'eddubu ennyagiddwako abaana baayo ku ttale; era kitaawo musajja mulwanyi, tayinza kusula mu bantu.#Nge 17:12, Kos 13:8 9Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti, ‘abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo.’ 10Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋaanga omutima gw'empologoma, aligweramu ddala amaanyi; kubanga Isiraeri yenna bamanyi nga kitaawo musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira. 11Naye nze amagezi genkuwa, kuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, babe bangi ng'omusenyu gw'ennyanja; naawe mwene otabaale.#2 Sam 3:10 12Tulimuketta ne tumuzindukiriza, netumugwako nga omusulo bwe gugwa ku ttaka; tulitta abasajja be bonna obutalekawo n'omu. 13Bw'aliddukira mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.” 14Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti, “Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi.” Kubanga Mukama yali asazeewo okuteesa okulungi Akisoferi kwe yaleeta kuleme kugobererwa alyoke aleete akabi ku Abusaalomu.#2 Sam 15:31,34
Dawudi alabulwa n'adduka
15Awo Kusaayi n'abuulira Zadoki ne Abiyasaali bakabona nti, “Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri amagezi; ate bw'enti nange bwe mbawadde amagezi.#2 Sam 15:35,36 16Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti, ‘Tosula mu kiro kino awasomokerwa mu ddungu; mu ngeri yonna asomoke, kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.’ ”#2 Sam 15:28 17Awo Yonasaani ne Akimaazi ne balindiranga ku Luzzi Enerogeri, kubanga baali beewala okulabibwa mu kibuga. Omuzaana n'agendanga n'ababuulira nabo ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi.#2 Sam 15:27,36 18Naye lwali lumu omulenzi n'abalaba n'ategeeza Abusaalomu; awo bombi ne bagenda mangu ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo. 19Omukazi n'addira ekisaanikira n'asaanikira ku luzzi, n'ayanjalirako eŋŋaano ensekule; nga tewaali ayinza kubaako kyamanya.#Yos 16:6 20Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti, “Basomose akagga bagenze.” Awo bwe banoonya ne batabalaba ne baddayo e Yerusaalemi. 21Awo abaddu ba Abusaalomu nga bamaze okugenda, Akimaazi ne Yonasaani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi. Awo ne bagamba Dawudi nti, “Mugolokoke mangu musomoke kubanga Akisoferi abasalidde amagezi okubalwanyisa.” 22Awo Dawudi n'asituka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka Yoludaani; emmambya okugenda okusala nga bamaze okusomoka. 23Akisoferi bwe yalaba nga amagezi ge tebagagoberedde, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe, n'atereeza eby'omu maka ge, ne yeetuga ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe.#2 Sam 15:12, Mat 27:5
24Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu naye n'asomoka Yoludaani ng'ali n'abasajja ba Isiraeri bonna.#2 Sam 2:8 25Abusaalomu n'alonda Amasa okubeera omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuisiraeri eyali awasizza Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina wa Yowaabu.#2 Sam 19:13; 20:9,12, 1 Bassek 2:5,32, 1 Byom 2:13,16,17, 1 Byom 2:13,16,17 26Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu,#2 Sam 15:27,36 28ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike, 29n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya; kubanga baayogera nti, “Abantu balumiddwa nnyo enjala ne nnyonta era bakoyedde nnyo mu ddungu.”