2 Samwiri 15
15
Abusaalomu ategeka okujeemera kitaawe
1Awo oluvannyuma lw'ebyo, Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano (50) okumukulemberanga.#1 Bassek 1:5 2Awo Abusaalomu n'agolokokanga buli nkya n'ayimiriranga ku kkubo erya wankaaki w'ekibuga; omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga emwetaagisa okulaba kabaka amulamula, Abusaalomu ng'amuyita n'amubuuza nti, “Oli wa ku kyalo ki?” N'amuddamu nti, “Omuddu wo ava mu kimu ku bika bya Isiraeri.”#Luus 4:1 3Abusaalomu n'amugamba nti, “Ebigambo byo birungi; naye tewali muntu kabaka gw'asigidde ku kuwuliriza.” 4Abusaalomu n'ayogeranga era nti, “Singa nze mulamuzi mu nsi! Buli muntu eyandizenga gyendi ng'alina ensonga nali mulamuliddenga mu mazima.”#Balam 9:29 5Awo omuntu bwe yasemberanga awali Abusaalomu okumuvuunamira, nga Abusaalomu agolola omukono gwe ng'amukwatako era ng'amunywegera. 6Abusaalomu bwe yakolanga Abaisiraeri bonna abajjanga eri kabaka okubalamula; n'abba bwatyo emyoyo gy'abantu ba Isiraeri.
7Awo olwatuuka emyaka ena (4) bwe gyayitawo, Abusaalomu n'asaba kabaka nti, “Nkwegayiridde ka ŋŋende e Kebbulooni nsasule obweyamo bwange eri Mukama. 8Kubanga omuddu wo bwe yali e Gesuli mu Busuuli yeeyama eri Mukama nti, ‘Mukama bwalinkomyawo e Yerusaalemi ndimuweereza.’ ”#Lub 28:20,21, 2 Sam 13:38 9Kabaka n'amugamba nti, “Genda mirembe.” Awo n'agolokoka n'agenda e Kebbulooni. 10Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti, “Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ”#2 Bassek 9:13 11Abusaalomu n'agenda n'abasajja bibiri (200), abaava e Yerusaalemi ne bagenda nga tebamanyiridde; so nga tebamanyi kigambo kyonna. 12Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi ow'e Giro, omuwi w'amagezi owa Dawudi, ajje amwegatteko. Okwekobaana ne kuba kw'amaanyi, abeekobaana ne Abusaalomu ne bagenda nga beeyongera obungi.#1 Byom 27:33, Zab 41:9; 55:12-14
Dawudi adduka okuva mu Yerusaalemi
13Omubaka n'ajja eri Dawudi n'amugamba nti, “Emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri giwuguse, bagoberedde Abusaalomu.” 14Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye nti, “Tudduke; bwe tutadduke, tewaabeewo n'omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Mwanguwe okugenda, aleme kututukako kutuletako kabi, n'atta abantu ab'omu kibuga n'obwogi obw'ekitala.” 15Awo abaddu ba kabaka ne bagamba kabaka nti, “Laba, abaddu bo beeteeseteese okukola kyonna mukama wange kabaka ky'anaayagala.” 16Kabaka n'afuluma n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera. Kabaka n'aleka abakazi kkumi (10) abazaana okukuuma ennyumba.#2 Sam 16:21,22; 20:3 17Awo kabaka n'afuluma abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki. 18Abaddu be bonna ne bamuyitako ku mabbali; n'Abakeresi bonna n'Abaperesi bonna n'Abagitti bonna, abasajja lukaaga (600) abaamugoberera okuva e Gaasi, ne bayita mu maaso ga kabaka.#2 Sam 8:18 19Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki ggwe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka, kubanga oli munnaggwanga eyagobebwa. Ddayo ewammwe.#2 Sam 18:2, Luus 1:8 20Ggwe eyajja jjo, nnaakubungeesa ntya awamu naffe, nga nange simanyi gye ŋŋenda? Ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe.” 21Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti, “Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga.”#Luus 1:16,17 22Awo Dawudi n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Yitawo osomoke.” Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye. 23Abantu bonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka; ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni, ne bagenda mu ddungu.#1 Bassek 2:37, Yok 18:1 24Awo kabona, Zadoki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga basitudde essanduuko ya Katonda ey'endagaano. Ne Abiyasaali n'agenda. Essanduuko ya Katonda ne bagiwummuza wansi, okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.#Kubal 4:15, 1 Sam 4:3; 22:20, 2 Sam 8:17; 20:25 25Awo Kabaka n'agamba Zadoki nti, “Essanduuko ya Katonda gizzeeyo mu kibuga. Mukama bw'aliba ankwatiddwa ekisa, alinkomyawo ne ngiraba yo era n'ennyumba ye.#Kuv 15:13, Zab 43:3, Yer 25:30 26Kyokka bw'aligamba nti, ‘Sikusanyukira n'akatono;’ kale nzuuno nzikirizza ankole nga bw'asiima.”#15:26 1 Sam 3:18, 2 Sam 22:20 27Era kabaka n'agamba Zadoki kabona nti, “Ggwe toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali.#1 Sam 9:9, 2 Sam 17:17; 18:19, 1 Bassek 1:42 28Nze nja kusigala nga nnindira ku kagga we basomokera okugenda mu ddungu, okutuusa lwe munantumira ne mubaako kye muntegeeza.” 29Awo Zadoki ne Abiyasaali ne batwala essanduuko ya Katonda ne bagizzayo mu Yerusaalemi, n'abo ne basigala eyo.
Dawudi n'agenda ng'akaaba n'ayambuka ku lusozi
30Awo Dawudi n'ayambuka ku lusozi olw'emizeyituuni, n'agenda ng'akaaba amaziga nga yeebisse ku mutwe era nga talina ngatto, n'abantu bonna abaali naye ne beebikka ku mitwe gyabwe ne bambuka nga bakaaba amaziga.#2 Sam 19:4, Es 6:12, Is 20:2-4, Ez 24:17, Luk 19:29,41 31Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti, “Akisoferi ali mw'abo abeekobaanye ne Abusaalomu.” Dawudi n'asaba nti, “Nkwegayiridde, ayi Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru.”#2 Sam 16:23; 17:14,23, Yob 12:17,20 32Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko we basinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye nga yeesiize n'ettaka mu mutwe gwe.#Yos 16:2, 2 Sam 16:16; 17:5 33Dawudi n'amugamba nti, “Bw'onoogenda nange ojja kunzitoowerera; 34naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti, ‘Nze nnabanga omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda;’ olwo ojja kutataganya okuteesa kwa Akisoferi.#2 Sam 16:19 35Bakabona Zadoki ne Abiyasaali bajja kubeerayo wamu naawe, kale buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga bakabona Zadoki ne Abiyasaali.#2 Sam 17:15,16 36Laba, batabani baabwe bombi bali nabo eyo, Akimaazi mutabani wa Zadoki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kye munaawuliranga.”#2 Sam 17:17 37Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n'addayo mu kibuga Yerusaalemi, ne bakituukiramu kumu ne Abusaalomu.#2 Sam 16:15,16, 1 Byom 27:33
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.