Ves al contingut

2 Samwiri 13

13
Amunoni ne Tamali
1Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; awo olwatuuka Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwegomba.#2 Sam 3:2,3, 1 Byom 3:2,9 2Awo Amunoni naayaka olw'okwegomba okubeera ne mwannyina Tamali; n'okulwala n'alwala; Tamali yali tannamanya musajja, Amunoni n'akirowooza nga kizibu okumufuna. 3Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi; era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo.#1 Sam 16:9; 17:13, 1 Byom 2:13 4N'amugamba nti, “Ggwe omwana wa kabaka lwaki weeyongera okukenena buli lunnaku? Kiki mbuulira.” Amunoni n'addamu nti, “Njagala Tamali mwannyina Abusaalomu muganda wange.” 5Awo Yonadabu n'amugamba nti, “Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze; kale kitaawo bw'alijja okukulaba, n'omugamba nti, ‘Nkwegayiridde mwannyinaze Tamali ajje ampe emmere okulya, afumbire emmere mu maaso gange nga ndaba agimpe ngirye.’ ” 6Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza; awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti, “Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange agimpe ngirye.” 7Awo Dawudi n'atumira Tamali ng'agamba nti, “Genda nno mu nnyumba ya mwannyoko Amunoni omufumbire emmere.” 8Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya mwannyina Amunoni; n'amusanga ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya, n'abufumbamu emigaati nga Amunoni alaba. 9N'agireetera mu kikalango, n'agissa mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti, “Abasajja bonna bave we ndi.” Abasajja bonna ne bava waali. 10Amunoni n'agamba Tamali nti, “Leeta emmere mu kisenge ngirye nga woli.” Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agitwala mu kisenge eri Amunoni mwannyina. 11Awo bwe yagimusembereza, n'amukwata n'amugamba nti, “Mwannyinaze jjangu weebake nange.” 12Tamali n'amuddamu nti, “Nedda mwannyinaze, tonkwata, kubanga ekintu nga kino tekikolebwa mu Isiraeri. Tokola kintu kino eky'obugwenyufu.#Lub 34:7, Leev 18:9,11; 20:17, Yer 29:23 13Kale nze ndiraga wa nga mmaze okuwemuka bwe nti? Oliba omu ku bagwenyufu ab'omu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, ekyo kyogere ne kabaka, tajja kukunnyima.” 14Naye Amunoni n'atamuwuliriza, era kubanga yamusinza amaanyi, n'amukwata lwa mpaka, ne yeebaka naye. 15Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti, “Situka ogende!” 16Tamali n'addamu nti, “Nedda mwannyinaze, eky'okunsindikiriza kibi nnyo okusinga kyewasose okukola.” Naye n'atamuwuliriza. 17Amunoni n'ayita omuddu we eyamuweerezanga n'amugamba nti, “Fulumya omukazi ono ave we ndi, omuggalire ebweru.” 18Tamali yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi; kubanga bwe batyo bwe baayambalanga abawala ba kabaka embeerera. Awo omuddu n'amufulumya n'amuggalira ebweru.#Lub 37:3 19Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka emikono gye ku mutwe gwe n'agenda ng'akaaba.#2 Sam 1:11 20Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti, “Amunoni mwannyoko yeegasse naawe? Naye kaakano sirika, mwannyinaze; ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo.” Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba. 21Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo. 22Abusaalomu n'akyawa Amunoni kubanga yali akutte Tamali mwannyina, kyokka Abusaalomu n'atayogera na Amunoni kigambo na kimu, newakubadde ekirungi, wadde ekibi.
Abusaalomu atta Amunoni
23Awo olwatuuka nga wayiseewo emyaka ebiri, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalu-kazoli, ekiri ku mabbali ga Efulayimu; Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna babeereyo.#1 Sam 25:2,36 24Abusaalomu n'agenda eri kabaka n'amugamba nti, “Laba, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde kabaka n'abaddu be bagende wamu nange.” 25Kabaka n'agamba Abusaalomu nti, “Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera.” Abusaalomu n'amwetayirira, kyokka kabaka Dawudi n'agaana okugenda, wabula n'amusabira omukisa. 26Awo Abusaalomu n'ayogera nti, “Oba ogaanyi, kale nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe.” Kabaka n'amubuuza nti, “Kiki ekinaaba kimutwala naawe?” 27Naye Abusaalomu n'amwetayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye. 28Awo Abusaalomu n'alagira abaweereza be nti, “Mutunuulire Amunoni, bwe mumulaba ng'atamidde omwenge, era ne mbagamba nti, ‘Mukube Amunoni mumutte,’ temutya kubanga nze nnaaba mbalagidde. Mugume mube bazira.”#1 Sam 25:36 29Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 30Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu.” 31Awo kabaka n'asituka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna abali naye nabo ne bayuza engoye zaabwe.#2 Sam 12:16 32Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti, “Mukama wange aleme okulowooza nti basse abaana ba kabaka bonna abalenzi; Amunoni yekka ye afudde; kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'amaliridde okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina.#2 Sam 13:3,14 33Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza nti abaana ba kabaka bonna bafudde; kubanga Amunoni yekka ye afudde.” 34Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyali ku gw'okukuuma bwe yayimusa amaaso, n'alengera abantu bangi nga bajja, nga bakutte ekkubo ery'oku lusozi emabega we.#2 Sam 18:24 35Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti, “Laba, abaana ba kabaka batuuse; ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe kityo bwe kiri.” 36Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa amaloboozi gaabwe; era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini. 37Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'akungubagiranga mutabani we Amunoni buli lunaku.
38Awo Abusaalomu n'amala e Gesuli emyaka esatu (3). 39Kabaka bwe yamala okukungubagira Amunoni, n'alumirwa mutabani we Abusaalomu n'ayagala okugenda gyali.#Lub 24:67; 37:35