2 Samwiri 1
1
Ebikwata ku kabaka Dawudi
(1:1—20:26)
Dawudi ategeezebwa okufa kwa Sawulo
1Awo olwatuuka Sawulo ng'amaze okufa, ne Dawudi ng'akomyewo ng'amaze okuwangula Abamaleki, era nga yakamala ennaku bbiri (2) e Zikulagi;#1 Sam 30:17-20; 31:6 2awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu (3), omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe, awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza.#Yos 7:6, 2 Sam 14:4 3Dawudi n'amubuuza nti, “Ova wa?” N'amuddamu nti, “Ntolose okuva mu lusiisira lwa Isiraeri.” 4Dawudi n'amugamba nti, “Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira.” N'addamu nti, “Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we nabo bafudde.”#1 Sam 4:16; 31:1,2,6, 2 Sam 4:10 5Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Otegedde otya nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde?” 6Omulenzi n'amuddamu nti, “Nnabadde ku lusozi Girubowa ne ndaba Sawulo nga agudde ku ffumu lye. Era ne ndaba ab'amagaali n'abeebagadde embalaasi nga bamufumbiikiriza.#1 Sam 31:3,4 7Awo bwe yakyuse n'andaba, n'ampita. Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’ 8N'aŋŋamba nti, ‘Ggwe ani?’ Ne muddamu nti, ‘Nze ndi Mwamaleki.’ 9N'aŋŋamba nti, ‘Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga nfumitiddwa ebiwundu by'amaanyi sijja kuwona.’ 10Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu nga amaze okugwa; ne muggyako engule eyali ku mutwe gwe, n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbikuletedde mukama wange.” 11Awo Dawudi n'akwata engoye ze n'aziyuza; era n'abasajja bonna abaali naye ne bakola bwe batyo;#Yos 7:6, 2 Sam 3:31; 13:31, Yob 1:20 12ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga battiddwa n'ekitala.#1 Sam 31:13, 2 Sam 3:35 13Dawudi n'abuuza omulenzi eyamubuulira nti, “Oli wa wa?” N'addamu nti, “Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki.” 14Dawudi n'amubuuza nti, “ Kiki ekyakulobera okutya okugolola omukono gwo okuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako amafuta?” 15Dawudi n'ayita omu ku balenzi n'amugamba nti, “Sembera omutte.” N'amufumita n'amutta.#2 Sam 4:10 16Dawudi n'amugamba nti, “Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; akamwa ko ye mujulirwa kubanga oyogedde nti, ‘Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.’ ”#Yos 2:19, 2 Sam 3:29, 1 Bassek 2:37, Mat 27:25, Luk 19:22
Dawudi akungubagira Sawulo ne Yonasaani
17Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we bwati,#2 Sam 3:33, 2 Byom 35:25 18n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda oluyimba olw'omutego; laba, lwawandiikibwa mu Kitabo kya Yasali.
19Ekitiibwa kyo, ayi Isiraeri, kittiddwa ku bifo byo ebigulumivu!
Ab'amaanyi nga bagudde!
20Temukibuuliranga mu Gaasi,
Temukyatulanga mu nguudo za Asukulooni;
Abawala b'Abafirisuuti baleme okusanyuka,
Abawala b'abatali bakomole baleme okujaguza.#Kuv 15:20, Balam 11:34; 14:3; 16:23,24, 1 Sam 31:9, Mi 1:10
21Mmwe ensozi za Girubowa,
Ku mmwe kuleme okubaako omusulo newakubadde enkuba, newakubadde ensuku ez'ebiweebwayo;
Kubanga eyo engabo ey'ab'amaanyi gye yasuulibwa obubi,
Engabo ya Sawulo, ng'ataafukibwako mafuta.#Is 21:5
22Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga mabega
Okuva ku musaayi gw'abattibwa,
ku masavu g'ab'amaanyi,
N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere.#1 Sam 18:4
23Sawulo ne Yonasaani baali balungi nga basanyusa mu bulamu bwabwe,
Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa;
Baali ba mbiro okusinga empungu,
Baali ba maanyi okusinga empologoma.#Yer 4:13, Kaab 1:8
24Mmwe abawala ba Isiraeri, mukaabire Sawulo,
Eyabambaza engoye ezitwakaala ez'okwesiima,
Eyayonja ebyambalo byammwe ne zaabu.#Ez 16:11
25Ab'amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo!
Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu.
26Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani;
Wansanyusanga nnyo nnyini;
Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo,
Nga kusinga okwagala kw'abakazi.#1 Sam 18:1,3
27Ab'amaanyi nga bagudde,
N'eby'okulwanyisa nga bizikiridde!#2 Sam 1:19
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.