Ves al contingut

2 Peetero 1

1
Okulamusa
1Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafuna okukkiriza okw'omuwendo omungi nga ffe bwe twakufuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo; 2ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe.#Yud 2
Ekisa kya Katonda mu Kristo ye nsibuko y'obulamu obulungi
3Kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye.#1 Peet 2:9 4Mu byo mweyatuweera ebisuubizo ebinene era eby'omuwendo omungi ennyo; olw'ebyo mulyoke muwone okuzikirira okuli mu nsi okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwa Katonda bwe. 5Olw'ensonga eno mufube okulaba nga, ku kukkiriza kwammwe mwongerako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe mwongerako okutegeera;#Bag 5:6,22, Yud 3 6era ne ku kutegeera kwammwe mwongerako okwegendereza; era ne ku kwegendereza kwammwe mwongerako okugumiikiriza; era ne ku kugumiikiriza kwammwe mwongerako okutya Katonda; 7era ne ku kutya kwammwe Katonda mwongerako okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe mwongerako okwagala.#Bag 6:10 8Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo. 9Kubanga ataba n'ebyo ye muzibe w'amaaso awunawuna, bwe yeerabira okunaazibwako ebibi bye eby'edda.#1 Yok 2:9,11 10Kale, ab'oluganda, kyemunaavanga mweyongera obweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa, kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n'akatono. 11Bwe mutyo mulyoke muyingizibwe mu bugagga obw'obwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.#Yok 3:5; 10:7
Peetero byajukiza ekkanisa
12Kyenaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina.#Yud 5 13Era ndowooza nga kya nsonga, nga nkyali mu mubiri#1:13 Baibuli ezimu zikozesa ensiisira. guno, okubakubirizanga nga mbajjukiza;#2 Kol 5:1 14nga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.#Yok 21:18,19 15Kyenva nfuba ennyo okulaba nga ne bwendiba nga maze okufa, nga ebyo byonna musobola okubijjukira.
Abaalaba ku kitiibwa kya Kristo
16Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe. 17Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo.”#Mat 17:5 18Twawulira eddoboozi lino ery'ava mu ggulu, kubanga twali awamu naye ku lusozi olutukuvu. 19Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe. 20Okusookera ddala mutegeere kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekyajja nga kisinziira ku kunnyonnyola kwa nnabbi oyo. 21Kubanga tewali kigambo kya bunnabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu, naye abantu baayogeranga ebyavanga eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.#2 Tim 3:16,17