Ves al contingut

2 Bassekabaka 8

8
Kabaka wa Isiraeri n'omukazi Omusunammu
1Erisa yali agambye omukazi gwe yazuukiriza omwana we ng'ayogera nti Situka ogende ggwe n'ennyumba yo obeere yonna yonna gy'oliyinza okubeera: kubanga Mukama ajja kuleeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu.#Lub 41:27, 2 Bassek 4:35, Kag 1:11 2Awo omukazi n'asituka n'akola ng'ekigambo bwe kyali eky'omusajja wa Katonda: n'agenda ye n'ab'omunnyumba ye yonna, n'abeera mu nsi y'Abafirisuuti okumala emyaka musanvu.#Luus 1:1 3Awo olwatuuka emyaka omusanvu bwe gyaggwaako, omukazi n'akomawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'agenda eri kabaka n'amusaba okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. 4Yasanga kabaka ayogera ne Gekazi omuddu wa Erisa omusajja wa Katonda ng'agamba nti Nkwegayiridde, mbuulira byonna ebikulu Erisa bye yakola.#2 Bassek 4:12 5Gekazi bwe yali abuulira kabaka nga Erisa bwe yazuukiza omuntu eyali afudde, omukazi oli Erisa gwe yazuukiriza omwana we n'atuuka mu kaseera ako, n'akaabirira kabaka ng'amwegayirira okuddizibwa ennyumba ye n'ekibanja kye. Gekazi n'agamba nti, Ayi kabaka, ono ye mukazi, n'ono ye mwana we, Erisa gwe yazuukiza.#2 Bassek 4:35 6Kabaka n'abuuza omukazi bwe byali, omukazi n'amubuulira byonna. Kabaka n'amuteekako omukungu gwe yalagira nti Omukazi ono muddize byonna ebyali ebibye, n'omuwendo ogugya mu bibala byonna ebyava mu kibinja kye, ebbanga lyonna lye yamala nga taliiwo.
Erisa ne kabaka Benikadadi ow'e Busuuli
7Awo Erisa n'ajja e Ddamasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yali ng'alwadde; Benikadadi ne bamubuulira nti Omusajja wa Katonda azze eno.#1 Bassek 20:1, 2 Bassek 6:24 8Kabaka n'agamba Kazayeeri nti Twala ekirabo ogende osisinkane omusajja wa Katonda, omusabe atubuulize eri Mukama oba nga Ndiwona obulwadde buno.#1 Sam 9:7, 1 Bassek 19:15,17, 2 Bassek 1:2 9Awo Kazayeeri n'agenda okusisinkana Erisa, ng'atutte ku bintu byonna ebirungi eby'omu Ddamasiko, ekirabo ekyetikkiddwa eŋŋamira ana (40). Bwe yatuuka awali Erisa, ne yeeyanjula ng'agamba nti Omwana wo Benikadadi, kabaka w'e Busuuli antumye gy'oli ng'abuuza oba ng'anaawona obulwadde obumuluma. 10Erisa n'amuddamu nti Genda omugambe nti ddala ajja kuwona obulwadde obumuluma; naye Mukama antegeezezza nga talirema kufa. 11Awo Erisa n'atunuulira Kazayeeri enkaliriza, okutuusa Kazayeeri ensonyi lwe zaamukwata. Erisa omusajja wa Katonda n'akaaba amaziga. 12Awo Kazayeeri n'amubuuza nti Mukama wange okaabira ki? Erisa n'addamu nti Kubanga mmanyi obubi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omuliro, abalenzi baabwe olibatta n'ekitala, olitta abaana baabwe abato, era olibaaga abakazi baabwe abali embuto.#2 Bassek 10:32; 13:3,7,22; 15:16, Is 13:16, Kos 10:14; 13:16 13Awo Kazayeeri n'ayogera nti Omuddu wo kye ki, embwa obubwa, akukola ekigambo ekyenkanidde awo? Erisa n'addamu nti Mukama antegeezezza nga gw'oliba kabaka w'e Busuuli.#1 Sam 17:43, 2 Sam 9:8, 1 Bassek 19:15 14Awo n'ava eri Erisa n'addayo eri mukama we; Benikadadi n'amubuuza nti Erisa akugambye ki? N'addamu nti Aŋŋambye nti Ojja kuwona. 15Kyokka enkeera Kazayeeri n'addira bulangiti n'aginnyika mu mazzi n'agimuteeka ku nnyindo n'omumwa, kabaka n'afa ekiziyiro. Kazayeeri n'afuga mu kifo kye.
Yekolaamu kabaka wa Yuda
(2 Byom 21:1-20)
16Awo mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga ye kabaka wa Yuda mu biro ebyo, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.#2 Bassek 1:17; 3:1, Mat 1:8 17Yali awezzezza emyaka asatu mu ebiri (32) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.#2 Byom 21:5-10 18N'atambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: era n'awasa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi. 19Naye Mukama teyayagala kuzikiriza Yuda kubanga yasuubiza omuddu we Dawudi ng'ab'ezadde lye banaafuganga obwakabaka obwo emirembe gyonna.#2 Sam 21:17, 1 Bassek 11:36; 15:4 20Ku mirembe gya Yekolaamu Edomu n'ajeemera Yuda ne beeterawo kabaka.#1 Bassek 22:47, 2 Bassek 3:9 21Yekolaamu n'agenda e Zayiri n'amagaali ge gonna. Eggye ly'Abaedomu ne limuzingiza. Ekiro, ye n'abaduumizi b'amagaali ge ne basobola okuwaguza, abasserikale be ne badduka, buli omu n'adda gy'abeera. 22Edomu n'ejeemera Yuda n'okutuusa kati. Era mu kiseera ekyo, n'ekibuga Libuna ne kijeema.#Lub 27:40, Yos 10:29,30 23Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekolaamu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. 24Awo Yekolaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikirwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.#2 Byom 21:17,20, 2 Byom 22:1-6
Akaziya kabaka wa Yuda
(2 Byom 22:1-9)
25Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12) ogwa Yolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.#2 Bassek 9:29 26Yali aweza emyaka abiri mu ebiri (22) bwe yatandika okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli kabaka wa Isiraeri. 27N'atambulira mu kkubo ly'ennyumba ya Akabu n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu. 28Kabaka Akaziya n'agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.#1 Bassek 22:3 29Awo kabaka Yolaamu n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'agenda e Yezuleeri okulaba Yolaamu mutabani wa Akabu obulwadde.#2 Bassek 9:15,16