2 Bassekabaka 6
6
Erisa abbulula embazzi mu mazzi
1Awo abaana ba bannabbi ababeeranga ne Erisa lwali lumu ne bamugamba nti Ekifo kye tulimu kituyinze obufunda. 2Tukwegayiridde tukkirize tugende ku mugga Yoludaani tutemeyo buli muntu omuti gumu twezimbirewo ekifo ekigazi. N'addamu nti Mugende. 3Omu ku bo n'amugamba nti Kkiriza ogende n'abaddu bo. N'addamu nti Kale n'agenda. 4Awo n'agenda nabo. Awo bwe baatuuka ku Yoludaani, ne batema emiti. 5Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba ng'aleekaana nti Zinsanze, mukama wange! kubanga embazzi ebadde nneeyazike. 6Omusajja wa Katonda n'abuuza nti Egudde wa? N'amulaga ekifo. Erisa n'atema omuti n'abbulukusa ekyuma.#2 Bassek 2:21 7N'amugamba nti Gikwate. N'agolola omukono gwe n'agikwata.
Erisa aziba amaaso g'Abasuuli
8Awo kabaka w'e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesa n'abaddu be ng'ayogera nti Egindi ye eriba olusiisira lwange. 9Omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Weekuume oleme okuyita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye basiisidde. 10Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusajja wa Katonda kye yali amubuuliddeko ng'amulabula. Emirundi mingi, kabaka n'awona okutuukibwako akabi mu kifo ekyo. 11Ekyo n'ekyeralikiriza nnyo kabaka n'asoberwa. N'ayita abakungu be n'ababuuza nti Ani ku mmwe ali ku lwa kabaka wa Isiraeri atulyamu olukwe? 12Omu ku baddu be n'addamu nti Nedda, mukama wange, ayi kabaka; naye Erisa nnabbi ali mu Isiraeri ye abuulira kabaka wa Isiraeri ebigambo by'oyogerera mu kisenge ky'osulamu.#Mub 10:20 13N'agamba nti Mugende mulabe gy'ali, ndyoke ntume mukwate. Ne bamubuulira nti, Ali mu Dosani. 14Awo n'asindikayo eggye ddene, embalaasi n'amagaali: ne ligenda kiro ne lizingiza ekibuga. 15Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. Omuddu we Erisa n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya? 16Erisa n'addamu nti Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali ku ludda lwabwe.#2 Byom 32:7, Zab 3:6, Bar 8:31 17Erisa n'asaba n'agamba nti Mukama wange, nkwegayiridde, zibula amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa.#Kubal 22:31, 2 Bassek 2:11, Zab 34:7 18Awo eggye ly'Abasuuli bweryaserengeta okulumba Erisa n'asaba Mukama ng'agamba nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali.#Lub 19:11, Bik 13:11 19Erisa n'abagamba nti Lino si lye kkubo so ne kino si kye kibuga: mungoberere nange n'abatuusa eri omusajja gwe munoonya. N'abatwala e Samaliya. 20Awo olwatuuka bwe baatuuka mu Samaliya, Erisa n'ayogera nti Mukama wange, zibula amaaso g'abantu bano balabe. Awo Mukama n'azibula amaaso gaabwe ne balaba; kale, laba, nga bali mu Samaliya wakati. 21Awo kabaka wa Isiraeri bwe yabalaba, n'abuuza Erisa nti Kitange, mbatte? Mbatte? 22Erisa n'addamu nti Nedda tobatta, oyagala okubatta, obawambye mu lutalo? Bawe emmere n'amazzi, balye era banywe, obaleke baddeyo ewa mukama waabwe.#Nge 25:21, Bar 12:20 23Kabaka wa Isiraeri n'abakolera embaga nnene. Bwe baamala okulya n'okunywa, kabaka n'abasiibula ne baddayo ewa mukama waabwe. Okuva olwo, ebibinja bya Busuuli ne bikoma okujjanga mu nsi ya Isiraeri.#2 Bassek 5:2
Abasuuli bazingiza Samaliya
24Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'agenda n'azingiza ekibuga Samaliya.#1 Bassek 20:1 25Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nnyingi: kale, laba ne bakizingiza okutuusa lwe baatunda omutwe gw'endogoyi olw'ebitundu eby'effeeza kinaana (80), n'ekitundu ekyokuna eky'ekibya ekyakalimbwe wa Mayiba ne bakitunda ebitundu by'effeeza bitaano (500).#Kub 6:6 26Awo kabaka wa Isiraeri bwe yali ng'ayita ku bbugwe, omukazi n'amukaabirira nti Mbeera, mukama wange, ayi kabaka. 27Kabaka n'amuddamu nti Mukama bw'ataakuyambe, nze nnaggya wa eby'okukuyamba? Mu gguuliro nantiki mu ssogolero? 28Kabaka n'amubuuza nti Obadde ki? N'amuddamu nti Mukazi munnange ono yaŋŋamba nti Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye olwaleero, olwenkya tulyoke tulye owange! 29Ne tufumba omwana wange, ne tumulya. Ku lunaku olwaddako ne mmugamba nti Waayo omwana wo tumulye, kyokka omwana owuwe amukwese!#Leev 26:29, Ma 28:53,57, Kung 4:10, Ez 5:10 30Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala; abantu abali awo ku bbugwe ne balaba kabaka ng'ayambadde ebibukutu olw'okunakuwala.#1 Bassek 21:27 31N'agamba nti Katonda ambonereze n'obukambwe, Erisa mutabani wa Safati bw'ataatemweko omutwe olwaleero! 32Kabaka n'atumira Erisa omubaka. Mu kiseera ekyo Erisa yali wuwe eka n'abakadde abaali bazze okumulaba. Omubaka wa kabaka yali tannatuuka, Erisa n'agamba abakadde abo nti Mulabye omutemu ono bw'atumye bantemeko omutwe? Kale omubaka we bw'anajja, muggaleewo oluggi mulunyweze aleme kuyingira. Ne kabaka yennyini ajja kuba nga amuvaako emabega. 33Yali ng'akyayogera nabo, kabaka n'atuuka w'ali n'agamba nti Mukama ye atutuusizzaako akabi kano. Kale lwaki nnyongera okulindirira Mukama ky'anaakola?#Yob 2:9; 6:11
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.