2 Bassekabaka 22
22
Yosiya kabaka wa Yuda
(2 Byom 34:1-2)
1Yosiya yali awezzeza emyaka munaana bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka asatu mu gumu (31) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye nga ye Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi.#2 Byom 34:1,2 2N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
Ekitabo ky'amateeka kizuulibwa
(2 Byom 34:8-28)
3Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n'atuma Safani omuwandiisi mutabani wa Azaliya, muzzukulu wa Mesullamu eri ennyumba ya Mukama ng'agamba nti#2 Byom 34:8-28 4Genda eri Kirukiya kabona asinga obukulu, omugambe abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu:#2 Bassek 12:4,9 5baziwe abakozi abaddabiriza ennyumba ya Mukama;#2 Bassek 12:11,12,14 6ababazzi n'abazimbi b'amayinja; olw'okugula emiti n'amayinja amabajje okuddaabiriza ennyumba. 7Naye tebaabala muwendo ogwabakwasibwa, kubanga baakola n'obwesigwa.#2 Bassek 12:15 8Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n'agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma. 9Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa abakozi b'emirimu abaddabiriza ennyumba ya Mukama. 10Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisomera mu maaso ga kabaka. 11Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'ekitabo eky'amateeka, n'atya n'anakuwala n'ayuza ebyambalo bye. 12Awo kabaka n'alagira Kirukiya kabona ne Akikamu mutabani wa Safani ne Akubooli mutabani wa Mikaaya ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka n'abagamba nti#2 Bassek 25:22, Yer 26:24 13Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abantu bonna ab'omu Yuda, ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaagondera bigambo biri mu kitabo kino, byonna ebyatuwandiikirwa tubikole.#Ma 29:27 14Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akubooli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kirukasi. Omukazi oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olwokubiri; ne bateesa naye ku nsonga eyo.#Kuv 15:20, Balam 4:4, Nek 6:14, Luk 2:36 15Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja obatumye gye ndi nti 16Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ng'ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye bwe biri: 17kubanga abantu bange banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira.#Ma 29:25-27 18Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde, 19nnagonza omutima gwo ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga kirifuuka matongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, ne nkusaasira, bw'ayogera Mukama.#Leev 26:31,32, 1 Bassek 21:29, Yer 25:9,18; 26:6; 44:22 20Nange kyendiva nkukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n'ozikiibwa mirembe mu ntaana yo, naawe toliraba bubi bwonna bwe ndireeta mu kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo ebyo.#2 Bassek 23:29
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.