2 Abakkolinso 2
2
Ensonga lwaki Pawulo yabawandiikira
1Naye nnamalirira mu mutima gwange, obutajja nate na nnaku gye muli.#2 Kol 12:21, 1 Kol 4:21 2Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza? 3N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja nneme kunnakuwazibwa abo abagwanira okunsanyusa; kubanga mbeesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna. 4Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina gye muli bwe kuli okungi ennyo.#Bik 20:31
Okusonyiwa eyasobya
5Naye bwe wabaawo omuntu eyaleeta okunakuwala, aba tanakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okubazitowerera ennyo.#1 Kol 5:1 6Kubanga ali bw'atyo ekibonerezo ekyo ky'awereddwa abangi kimala. 7Kyekiva kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi. 8Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala gyali. 9Kubanga era kyennava mpandiika, ndyoke mbagezese ntegeere, oba nga muli bawulize mu bigambo byonna.#2 Kol 7:15 10Buli gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo.#Luk 10:16 11Setaani alemenga kutwekulumbalizaako; kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze.#Luk 22:31
Pawulo mu Tulowa
12Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'Enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe,#Bik 14:27, 1 Kol 16:9 13omutima gwange tegwatereera kubanga saasangayo Tito muganda wange. Kyennava mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni.#Bik 20:1
Obuwanguzi mu Kristo
14Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawanguzi mu Kristo, era naatukozesa okumumanyisa mu bantu bonna, ng'evvumbe erisaasanira wonna. 15Kubanga tuli vvumbe eddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu abo ababula.#1 Kol 1:18 16Eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri abalokoka tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza?#2 Kol 3:5,6, Luk 2:34 17Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda, naye ng'abantu ab'amazima era abaatumibwa Katonda, bwe tutyo mu maaso ga Katonda bwe twogera mu Kristo.#2 Kol 1:12, 1 Peet 4:11
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.