Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 32

32
Sennakeribu alumba Yuda
(2 Bassek 18:13-37, Is 36:1-22)
1Oluvannyuma lw'ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n'obwesigwa bwe byagwa, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'alumba Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko ebigo ebigumu, n'alowooza mu mutima gwe okubyetwalira.#2 Bassek 18:13—19:37, Is 36:1—37:38 2Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwanyisa Yerusaalemi, 3n'ateesa n'abakungu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba ensulo z'amazzi ezaali ebweru w'ekibuga, ne bamuwagira. 4Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba ensulo ez'amazzi n'akagga akayita mu kitundu ekyo, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b'e Bwasuli basanga amazzi amangi nga bazze?”#2 Byom 32:30 5N'aguma omwoyo n'azimba ekisenge kyonna ekyali kimenyese n'akisitula okwenkana n'eminaala. N'azimba n'ekisenge ekirala ebweru waakyo. N'anyweza mu Kibuga kya Dawudi ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Mirro. N'akola eby'okulwanyisa n'engabo bingi nnyo ddala.#2 Sam 5:9, 2 Byom 25:23, Is 22:9,10 6N'ateekewo abaduumizi b'amagye okulabiriranga abantu, era n'abakuŋŋaanyiza w'ali mu kifo ekigazi ku wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okubagumya, nga agamba nti, 7“Mube n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w'e Bwasuli, newakubadde olw'egye lyonna eriri naye, kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye:#Ma 31:6, 2 Bassek 6:16, 2 Byom 14:11; 20:15 8Ye ali wamu n'eggye ery'abantu, naye tuli wamu ne Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe.” Abantu ne baguma olw'ebigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.#2 Byom 20:17, Zab 46:7,11, Yer 17:5
9Oluvannyuma lw'ebyo, Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli yali ng'azingizizza Lakisi n'amagye ge gonna, n'atuma abaddu be eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri abantu ba Yuda bonna abaali e Yerusaalemi, ng'agamba nti, 10“Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi? 11Keezeekiya tababuuzaabuza okubawaayo muffe enjala n'ennyonta, ng'agamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe ajja kubawonya mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?’ 12Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane? 13Temumanyi nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Bakatonda b'amawanga ag'omu nsi ezo baasobola okuwonya ensi zaabwe mu mukono gwange? 14Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe asobole okubawonya mu mukono gwange? 15Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubabuzabuza bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange. Kale olwo Katonda wammwe anaabawonya atya okubaggya mu mukono gwange?” 16Abakungu be ne beeyongera okuvuma Mukama Katonda, n'omuddu we Keezeekiya. 17Era n'awandiika ebbaluwa okuvvoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti, “Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala bwe bataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'atajja kuwonya bantu be mu mukono gwange.” 18Ababaka ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubakanga, bo balyoke bawambe ekibuga. 19Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe boogera ku bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi, abakolebwa n'emikono gy'abantu. 20Awo Keezeekiya kabaka ne nnabbi Isaaya, mutabani wa Amozi ne basaba Katonda, ne bamwegayirira ku nsonga eyo. 21Mukama n'atuma malayika n'asaanyaawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abaduumizi b'eggye mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Sennakeribu n'addayo mu nsi ye ng'aswadde. Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutemula n'ekitala. 22Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaali mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli, ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna. 23Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, Keezeekiya kabaka wa Yuda, ne bamuwa ebintu eby'omuwendo omungi. N'okuva ku lunaku olwo n'aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.#2 Byom 17:5
Keezeekiya alwala
(2 Bassek 20:1-11, Is 38:1-8)
24Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. N'asaba Mukama amuwonye, Mukama n'amuddamu n'akabonero nti ajja kuwona.#2 Bassek 20:1-11, Is 38:1-8 25Naye Keezeekiya n'ateebaza olw'ekisa ekya mukolerwa, olwa malala agaali mu ye. obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubukira ku ye, ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.#2 Byom 26:16 26Oluvannyuma Keezeekiya n'abantu b'omu Yerusaalemi ne beetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, obusungu bwa Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.#2 Bassek 20:19, 2 Byom 33:12, Yer 26:18,19 27Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini, ne yeezimbira amawanika ag'okuterekamu ffeeza ne zaabu, amayinja ag'omuwendo omungi, n'eby'akaloosa, n'engabo, n'ag'ebintu byonna ebirungi. 28N'azimba n'amaterekero g'eŋŋaano, n'omwenge, n'amafuta. N'azimba n'ennyumba ez'ebisolo ebirundibwa ebya buli ngeri, n'ebisibo by'endiga. 29Era ne yeezimbira ebibuga, n'afuna endiga, embuzi n'ente, bingi nnyo, kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo ddala. 30Era Keezeekiya oyo ye yaziba omukutu gw'amazzi ogw'engulu ogw'Oluzzi lwa Gikoni, n'agatemera ogwo ogw'okugaserengesa ku ludda olw'ebugwanjuba bw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya yalina omukisa mu mirimu gye gyonna.#2 Bassek 20:20, Is 22:9,11 31Naye mu bigambo by'ababaka abaatumibwa abakulu b'e Babbulooni okumubuuza ku ky'amagero ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.#Ma 8:2, 2 Bassek 20:12, Is 39:1 32Ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya, n'ebirungi bye yakola, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi, ne mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.#Is 1:1; 36:1—39:8 33Keezeekiya naafa, ne bamuziika mu kitundu ekya waggulu mu masiro ga bazzukulu ba Dawudi. Yuda yenna n'ab'omu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manase mutabani we n'amusikira.#2 Bassek 20:21