2 Ekyebyomumirembe 28
28
Kabaka Akazi
(28:1-27)
1Akazi yali wa myaka abiri (20) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. N'atakola birungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bye yakola.#2 Bassek 16:2-4 2Naye n'atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isiraeri, era n'akola n'ebifaananyi ebisaanuuse ebya Baali.#Kuv 34:17, Balam 2:11 3Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'awaayo batabani okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'agoberera emizizo gy'ab'amawanga nga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.#Leev 18:21, Ma 18:9, 2 Byom 33:2,6 4N'awangayo ssaddaaka wamu n'okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu, ne ku nsozi, ne wansi wa buli muti omubisi. 5Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mikono gwa kabaka w'e Busuuli, ne bamuwangula, ne batwala abantu bangi nnyo nga abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Ate era n'amuwaayo mu mikono gwa kabaka wa Isiraeri, eyamuttamu abantu be bangi nnyo.#2 Bassek 16:5,6, Is 7:1 6Peka, mutabani wa Lemaliya, yatta mu Yuda mu lunaku lumu, abasajja abazira, emitwalo kkumi n'ebiri (120,000), kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.#2 Bassek 15:27 7Zikuli omusajja ow'amaanyi owa Efulayimu n'atta Maaseya, mutabani wa kabaka, ne Azulikamu alabirira olubiri lwa kabaka, ne Erukaana eyali addirira kabaka. 8Abaana ba Isiraeri ne batwala ku baganda baabwe ab'omu Yuda, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, emitwalo abiri (200,000) nga basibe. Era ne babaggyako ebintu bingi, ne batwala omunyago e Samaliya. 9Naye nnabbi wa Mukama, yali mu Samaliya, erinnya lye Odedi, naye n'afuluma okusisinkana eggye nga likomawo e Samaliya, n'abagamba nti, “Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abawaayo mu mikono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu.#Is 47:6, Kub 18:5 10Era kaakano mwagala okufuga abantu b'omu Yuda ne mu Yerusaalemi, okuba abaddu n'abazaana bammwe, naye nammwe temuliiko bibi bye mwakola ne munyiiza Mukama Katonda wammwe? 11Kale nno mu mpulirize, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe, kubanga nammwe Mukama abasunguwalidde.” 12Awo abamu ku bakulembeze mu Efulayimu: Azaliya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesiremosi, Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, nabo ne bawakanya abo abaava mu ntalo, 13Ne babagamba nti, “Temuleeta wano abasibe: twakola dda ebibi ne tunyiiza Mukama mu Isiraeri, okwonoona kwaffe kunene, temwongera musango gwaffe kuba munene.” 14Awo abasserikale ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulembeze n'ekibiina kyonna. 15Abasajja abayogeddwako amannya gaabwe, ne basituka ne abo abasibe abaali obwereere ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta. Abatalina maanyi ne babatwalira ku ndogoyi, ne babatuusa e Yeriko, ekibuga eky'enkindu, mu baganda baabwe, bo ne balyoka baddayo e Samaliya.#Ma 34:3, 2 Bassek 6:22, Nge 25:21,22, Mat 5:44, Luk 10:33,34
Akabu asaba kabaka w'e Bwasuli okumuyamba
(2 Bassek 16:7-9)
16Mu biro ebyo kabaka Akazi n'atumira kabaka w'e Bwasuli okumuyamba. 17Kubanga Abaedomu baali bazzeemu okulumba Yuda ne batwala abasibe. 18Era n'Abafirisuuti nabo baali balumbye ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'omu bukiikaddyo obwa Yuda, ne bawamba Besusemesi, Ayalooni, Gederosi ne Soko n'ebyalo byakyo, Timuna ne Gimuzo n'ebyalo byabyo, ne babeeranga omwo. 19Mukama yafeebya nnyo Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri, kubanga yali akoze eby'effujjo, n'ataba mwesigwa n'anyiiza nnyo Mukama. 20Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amucocca mu kifo ky'okumuyamba. 21Akazi yaggya ebimu ku bintu mu nnyumba ya Mukama, ne mu nnyumba ya kabaka, ne mu za bakungu, n'abiwa kabaka w'e Bwasuli, era n'ekyo ne kitamuyamba. 22Kabaka oyo Akazi, ne mu kiseera mwe yalabira ennaku ne yeeyongera bweyongezi okusobya Mukama. 23N'awaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaali bamuwangudde, Kubanga yagamba nti, “bakatonda ba bakabaka b'e Busuuli babayamba, nange kambawe ssaddaaka bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n'okwa Isiraeri yonna. 24Akazi n'akuŋŋaanya ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'abyasaayasa byonna, n'aggalawo enzigi z'ennyumba ya Mukama ne yeekolera ebyoto mu buli nsonda mu Yerusaalemi. 25Ne mu buli kibuga kya Yuda n'akolamu ebifo ebigulumivu okwotereza obubaane bakatonda abalala, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe. 26Ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.#2 Bassek 16:19,20 27Akazi naafa ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemi, naye si mu masiro ga bassekabaka ba Isiraeri. Keezeekiya mutabani we n'amusikira.#2 Byom 21:20
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.