2 Ekyebyomumirembe 26
26
Kabaka Uzziya
(26:1-23)
1Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga (16) ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.#2 Bassek 14:21,22 2Uzziya n'addaabiriza Erosi, n'akiddiza Yuda, nga Amaziya kabaka amaze okufa. 3Uzziya yali wa myaka kkumi na mukaaga (16) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ataano mu ebiri (52) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi.#2 Bassek 15:2,3 4N'akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Amaziya bye yakola. 5Ne yeewaayo okunoonya Katonda, mu nnaku za Zekkaliya eyamuyigiriza okusaamu Katonda ekitiibwa. Era ebbanga lyonna lye yamala ng'anoonya Mukama, Katonda n'amuwa omukisa. 6Awo n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe w'ekibuga Gaasi, n'owa Yabune n'owa Asudodi. N'azimba ebibuga mu kitundu ky'e Asudodi ne mu nsi y'Abafirisuuti. 7Katonda n'amuyamba okuwangula Abafirisuuti n'Abawalabu abaabeeranga e Gulubaali n'Abamewunimu.#1 Byom 4:41, 2 Byom 21:16 8Abamoni ne bawanga Uzziya omusolo, erinnya lye ne lyatiikirira n'okutuusa ku nsalo ne Misiri, kubanga yali wa amaanyi mangi nnyo nnyini. 9Era Uzziya n'azimba eminaala mu Yerusaalemi ku mulyango ogw'omu Nsonda ne ku mulyango ogw'omu Kiwonvu, ne ku bbugwe w'awetera, n'abinyweza.#Nek 3:13,19 10N'azimba eminaala emirala mu ddungu n'asima ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi mu biwonvu ne mu lusenyi. Era yalina abalimi n'abasalira emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu, kubanga yayagala nnyo okulima. 11Era Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abeetegese okulwana, nga bali mu bibinja, ababalibwa ne bawandiikibwa Yeyeeri omuwandiisi, ne Maaseya omukungu, nga balabirirwa Kananiya, omu ku baduumizi ba kabaka. 12Omuwendo gwonna ogw'abakulu be ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi era abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga (2,600). 13Bano be bakuliranga eggye ly'abasirikale emitwalo asatu mu kasanvu mu bitaano (307,500), abaasobolanga okulwana n'amaanyi, okuyambanga kabaka okulwanyisa abalabe.#2 Byom 25:5 14Uzziya n'ategekera eggye lyonna engabo, n'amafumu, n'enkuffiira n'ebizibawo eby'ebyuma, n'emitego gy'obusaale, n'amayinja ag'envuumulo. 15Abasajja be ab'amagezi ne bayiiya ebyuma ebyateekebwa ku minaala ku nsonda za bbugwe okulasa obusaale n'okukasuka amayinja amanene. Ettutumu lye ne lituuka wala, n'aba wa maanyi, olw'obuyambi obungi ennyo bwe yafuna.
Uzziya afuna amalala
16Kabaka Uzziya bwe yafuna amaanyi, n'afuna muli amalala, n'akola ebikyamu n'anyiiza Mukama Katonda we, kubanga yayingira mu Yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'oterezebwako obubaane.#2 Byom 32:25, Ez 28:2,5,17 17Azaliya kabona ng'ali wamu ne bakabona kinaana (80), abasajja abazira, n'ayingira ng'amuvaako emabega. 18Ne baziyiza kabaka Uzziya, ne bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, wabula gwa bakabona ab'olulyo lwa Alooni, abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Vva mu kifo ekitukuvu, kubanga oyonoonye, era Mukama Katonda tajja kukuwa kitiibwa.”#Kuv 30:7,8, Kubal 16:40; 18:7, 1 Byom 23:13 19Awo Uzziya n'asunguwala nnyo, era yali ayimiridde awo ku kyoto kyo obubaane, ng'akutte ekyoterezo kyakwo, awo bwe yasunguwalira bakabona, ebigenge ne bimukwata mu kyenyi nga bakabona balaba.#Kubal 12:10, 2 Bassek 5:27 20Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, ne balaba nga akwatiddwa ebigenge mu kyenyi, ne banguwa okumufulumya ebweru, era naye yennyini n'ayanguwa okufuluma kubanga Mukama yali amubonerezza.#2 Bassek 15:5-7 21Kabaka Uzziya n'aba omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka, era nga takkirizibwa kuyingira mu nnyumba ya Mukama. Yosamu, mutabani we, n'abanga yakulira ennyumba ya kabaka, ng'ayafuga abantu ab'omu nsi.#Kubal 5:2 22Ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, bye yakola okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa nnabbi Isaaya, mutabani wa Amozi.#Is 1:1; 6:1 23Awo Uzziya naafa, n'aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu lusuku lwa bakabaka, sso si mu masiro ga bassekabaka, kubanga baagamba nti Mugenge. Yosamu mutabani we n'amufuga mu kifo kye.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.