Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 16

16
Baasa kabaka wa Isiraeri alumba Yuda
(1 Bassek 15:16-22)
1Awo mu mwaka ogwa asatu mu mukaaga (36) ogw'obufuzi bwa Asa, Baasa, kabaka wa Isiraeri, n'alumba Yuda. N'azimba ekigo ekigumu ku Laama okuziyiza omuntu yenna okuva mu Yuda, wadde okugendayo, okusobola okutuuka eri Asa kabaka wa Yuda.#1 Bassek 15:17-22, 1 Bassek 16:8, 2 Byom 15:9 2Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu muggwanika ly'omu nnyumba ya Mukama, ne mu lubiri lwe, n'abiweereza Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, n'obubaka buno nti, 3“Wabeerewo endagaano wakati wo nange, ng'eri eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo. Laba, nkuweereza ffeeza ne zaabu, omenyewo endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.” 4Benikadadi n'akkiriziganya ne kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri: ne bawamba Iyoni, Ddaani, Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'amawanika ebya Nafutaali. 5Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekerawo okuzimba Laama, n'ayimiriza okukomya omulimu. 6Awo kabaka Asa n'atwala abasajja ba Yuda, ne baggyawo amayinja n'emiti, Baasa bye yali azimbisa, n'abikozesa okuzimba Geba ne Mizupa. 7Mu kiseera ekyo, Kanani nnabbi, n'agenda eri Asa kabaka wa Yuda, n'amugamba nti, “Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli, n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya Isiraeri kye livudde likusumattuka.#1 Bassek 16:1, 2 Byom 19:2, Is 31:1, Yer 17:5 8Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene nga balina amagaali mangi n'abeebagala embalaasi bangi? Naye kubanga weesiga Mukama, yabakuwa n'obawangula.#2 Byom 12:3; 14:9 9Kubanga amaaso ga Mukama galaba okubuna ensi yonna, okweraga nga bw'ali ow'amaanyi okukuuma abo abamwesigira ddala. Kino ky'okoze kya busiru, olw'ekyo, okuva leero ojja kubanga n'entalo.”#1 Sam 13:13, 1 Bassek 8:61; 15:16,32, Nge 15:3, Zek 4:10, Beb 4:13 10Awo Asa n'asunguwalira nnyo nnabbi, kyeyava amukwata n'amuteeka mu kkomera. Mu biseera ebyo, Asa n'ayisa bubi nnyo abantu abamu.
Okufa kwa Asa
(1 Bassek 15:23-24)
# 2 Byom 18:26 11Ebikolwa bya Asa okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo ky'ebyafaayo bya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.#1 Bassek 15:23,24 12Mu mwaka ogw'asatu mu mwenda ogw'obufuzi bwe, Asa n'alwala ebigere, n'aba bubi nnyo. Naye newakubadde yalumizibwa nnyo, teyasaba Mukama kumuwonya, wabula yakozesa basawo. 13Awo mu mwaka ogw'ana mu gumu (41), Asa naafa. 14Ne bamuziika mu ntaana gye yali yeesimira mu lwazi, mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyaliko eby'akaloosa eby'enjawulo n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa. Ne bakuma ekyoto kinene okumukungubagira.#2 Byom 21:19, Yer 34:5, Mak 16:1, Yok 19:39,40