2 Ekyebyomumirembe 13
13
Kabaka Abiya
(13:1—14:1)
1Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu owa Isiraeri, Abiya n'atandika okufuga Yuda.#1 Bassek 15:1,2 2N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi. Nnyina yali Mikaaya, muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabaawo olutalo wakati wa Abiya ne Yerobowaamu.#1 Bassek 15:7, 2 Byom 11:20 3Abiya n'agenda mu lutalo ng'alina eggye ery'abasajja abazira, emitwalo ana (400,000), ate ye Yerobowaamu najja n'abasajja ab'amaanyi, emitwalo kinaana (800,000) okumulwanyisa. 4Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'agamba nti, “Gwe Yerobowaamu, nammwe aba Isiraeri mwenna mumpulirize. 5Temumanyi nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi n'ab'ezzadde lye obwakabaka bwa Isiraeri emirembe gyonna olw'endagaano eterikyuka?#Leev 2:13, Kubal 18:19, 2 Sam 7:12,13,16, Zab 89:3,4 6Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati, omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi, n'asituka n'ajeemera mukama we.#1 Bassek 11:26; 12:19,20 7Awo abasajja abataliimu nsa, ne beegatta ku Yerobowaamu ne beewaggula ku Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu, eyali ng'akyali muto nga tannafuna bumanyirivu bwa kubaziyiza.#2 Sam 20:1, 2 Byom 12:13 8Kaakano mulowooza okulwanyisa obwakabaka bwa Mukama, bwe yawa ab'ezzadde lya Dawudi, kubanga muli kibiina kinene, era era abalina n'ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda bammwe.#1 Bassek 12:28 9Mwagoba bakabona ba Mukama, ab'olulyo lw'Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'ab'amawanga amalala bwe bakola. Buli ajja ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, muyinza okumufuula kabona w'ebyo ebitali katonda.#2 Byom 11:14,15, Kos 8:6 10Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, tetumuvangako. Bakabona abaweereza Mukama, ba lulyo lw'Alooni era bayambibwako Abaleevi. 11Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu; ne bateeka n'emigaati egy'okulaga ku mmeeza ennongoofu, ne bakoleeza n'ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu, okwakanga buli kawungeezi. Ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira, naye mmwe mwamuvaako.#Kuv 25:31-39, 2 Byom 2:4 12Laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be balina amakkondeere ge banafuuwa okulangirira olutalo okulwana nammwe. Kale mmwe abaana ba Isiraeri, temulwanyisa Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, kubanga temujja kuwangula.”#Kubal 10:9, Yob 9:4, Bik 5:39 13Naye mu kiseera kye kimu Yerobowaamu yali asindise abamu ku balwanyibe, okuteega eggye lya Yuda nga baliva emabega, ate nga abalala balirumba okuva mu maaso. 14Awo Yuda bwe yaakebuka, ne balaba nga olutalo lubafulumye mu maaso n'emabega, ne bakaabira Mukama, ne bakabona ne bafuuwa amakkondeere.#2 Byom 14:11,12 15Awo abasajja ba Yuda ne baleekaana nnyo: bwe beeyongera okuleekaana ennyo, Katonda n'awangula Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda. 16Abaana ba Isiraeri ne badduka okuva mu maaso ga Yuda, naye Katonda n'abawaayo mu mukono gwabwe.#2 Byom 16:8 17Abiya n'eggye lye n'ebatta bangi nnyo ku ba Isiraeri, abattibwa bali emitwalo ataano (500,000). 18Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mulundi ogwo. Abaana ba Yuda basobola okuwangula, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. 19Abiya n'awondera Yerobowaamu, n'amuwambako ebibuga bye: Beseri, Yesana, Efulooni n'ebyalo ebyali bibiriraanye.#2 Byom 15:8 20Yerobowaamu teyaddayo kuba wa maanyi mu mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa.#1 Sam 25:38, 1 Bassek 14:20 21Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana (14) n'azaala abaana ab'obulenzi abiri mu babiri (22) n'ab'obuwala kkumi na mukaaga (16). 22Ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'empisa ze ne bye yayogera byawandiikibwa mu byafaayo bya nnabbi Iddo.#2 Byom 9:29
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.