Ves al contingut

2 Ekyebyomumirembe 1

1
Obwakabaka obwawamu obwa Sulemaani
(1:1—9:31)
Sulemaani ategeka ebya Yeekaalu (1:1—2:18)
1Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, kubanga Mukama Katonda we yali naye, n'amugulumiza nnyo.#1 Bassek 2:46, 1 Byom 29:25 2Sulemaani n'ayogera na ba Isiraeri bonna: abaami b'enkumi n'ab'ebikumi, n'abalamuzi na buli mukulembeze mu Isiraeri yenna, na bakulu be nnyumba za bajjajjaabwe.#1 Byom 27:1 3Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna ekyo ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakolera mu ddungu.#Kuv 29:42,43; 33:7, 1 Bassek 3:4, 1 Byom 21:29 4Naye essanduuko ya Katonda yali mu Yerusaalemi ng'eteekedwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya e Kiriyasuyalimu kubanga yali agisimbidde eweema e Yerusaalemi.#1 Byom 15:1,25—16:1 5Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleeri, mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama, n'ekibiina kyonna n'ekigendanga gye kiri.#Kuv 31:2; 38:1,2, 1 Byom 16:39 6Sulemaani n'agenda eri ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga weema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.#1 Bassek 3:4
7Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, mu kirooto n'amugamba nti, “Saba kye mba nkuwa.”#1 Bassek 3:5-13 8Sulemaani n'agamba Katonda nti, “Olazze Dawudi kitange ekisa kingi, bwonfudde kabaka mu kifo kye.#1 Byom 28:5 9Kale, ayi Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abali ng'enfuufu ey'oku nsi obungi.#Lub 13:16, 1 Bassek 8:26 10N'olwekyo mpa nno amagezi n'okumanya, nsobole okukulemberanga abantu bano bonna : kubanga ani ayinza okufuga abantu bo bano abenkanidde awo obungi?” 11Katonda n'agamba Sulemaani nti, “Ekyo kyosabye kirungi, so towesaabidde bugagga oba ebintu, wadde ekitiibwa, newakubadde okuzikiriza abo abakukyawa, so towesabidde kuwangaala, naye weesabidde amagezi n'okumanya, osobolenga okufuga abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe, 12amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa ebitabanga n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba n'oluvannyuma lwo mulala aliba nabyo.”#1 Byom 29:25, Mub 5:19; 6:2, Mat 6:33 13Awo Sulemaani n'ava e Gibyoni, awali Weema ey'okusisinkanirangamu, n'akomawo mu Yerusaalemi, n'afugira eyo Isiraeri.
Obugagga wa Sulemaani
(1 Bassek 10:26-29)
14Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi, n'aba n'amagaali lukumi mu bina (1,400) n'abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), n'abateeka mu bibuga eby'amagaali ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.#1 Bassek 10:26-29, 2 Byom 9:25-28 15Mu biseera bye ffeeza ne zaabu byayala mu Yerusaalemi ne biba bingi ng'amayinja obungi. N'emivule ne giba mingi ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi. 16Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri ne Kulikiya. Abasuubuzi bakabaka baazigulanga Kulikiya ng'ebbeeyi yaazo bwe yabanga. 17Amagaali baagaggyanga mu Misiri nga buli kigaali kigula sekeri lukaaga (600) eza ffeeza, ate embalaasi ng'egula sekeri kikumi mu ataano (150) eza ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga ne baziguza bakabaka b'Abakiiti n'Abasuuli.