1 Samwiri 30
30
Olutalo n'Abamaleki
1Awo olwatuuka, Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka e Zikulagi ku lunaku olwokusatu, Abamaleki baali bamaze okukwekweta obukiikaddyo ne Zikulagi, era nga bamaze okuwangula Zikulagi n'okukyokya omuliro;#1 Sam 27:6,8; 29:4,11 2era nga banyaze abakazi ne bonna abaali omwo, abato era n'abakulu; tebatta n'omu, naye baabanyaga ne babatwala ne bagenda. 3Awo Dawudi n'abasajja be bwe baatuuka ku kibuga, laba nga bakyokezza omuliro; ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe nga babanyaze. 4Awo Dawudi n'abantu abaali naye ne balyoka bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba amaziga okutuusa lwe baggwaamu endasi ezikaaba. 5Ne bakazi ba Dawudi bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri, baali babanyaze.#1 Sam 25:42,43, 2 Sam 2:2 6Dawudi n'anakuwala nnyo; kubanga abantu baayogera ku kumukasuukirira amayinja, kubanga abantu bonna omwoyo gwabaluma, buli muntu ng'alumirwa batabani be ne bawala be, naye Dawudi ne yeenywereza mu Mukama Katonda we.#Kuv 17:4, Kubal 14:10, 1 Sam 23:16, Yok 8:59
7Awo Dawudi n'agamba Abiyasaali kabona, mutabani wa Akimereki, nti, “Nkwegayiridde ndeetera wano ekkanzu ey'obwakabona.” Abiyasaali n'aleetera Dawudi ekkanzu ey'obwakabona. 8Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti, “Bwe nnaagoberera ekibiina kino, ndibatuukako?” N'amuddamu nti, “Goberera; kubanga tolirema kubatuukako, era tolirema kubibasuuza byonna.”#1 Sam 23:2,4 9Naye Dawudi n'agenda n'abasajja be olukaaga (600), bwe batuuka ku kagga Besoli, abamu ne basigala awo.#1 Sam 23:13 10Naye Dawudi ne basajja be bina (400) ne beyongerayo; kubanga abalala ebibiri (200) baali baakoye nnyo, ne batasobola nakusomoka kagga Besoli. 11Abasajja abaali ne Dawudi ne basanga Omumisiri mu ttale, ne bamuleeta eri Dawudi. Ne bawa Omumisiri oyo emmere n'alya, era ne bamuwa amazzi n'anywa. 12Ne bamuwa n'ekitole ky'ettiini n'ebirimba by'ezabbibu ebikalu bibiri (2). Bwe yamala okulya, n'afuna amaanyi, kubanga yali amaze ennaku ssatu (3) nga talya, era nga tanywa, emisana n'ekiro.#Balam 15:19 13Awo Dawudi n'abuuza Omulenzi nti, “Oli musajja w'ani? Era ova wa?” N'addamu nti, “Ndi mulenzi eyava e Misiri, omuddu w'Omwamaleki; mukama wange yansuula ennaku ssatu (3) eziyise kubanga nali mulwadde. 14Twakwekweta obukiikaddyo obw'Abakeresi n'ensi ya Yuda n'obukiikaddyo obwa Kalebu; ne twokya ne Zikulagi omuliro.”#1 Sam 25:3; 27:10; 30:1, Ez 25:16, Zef 2:5 15Dawudi n'amugamba nti, “Oyinza okuntwala eri ekibiina kino?” N'amuddamu nti, “Ndayirira Katonda nga tolinzita era tolimpaayo mu mikono gya mukama wange, ndyoke nkutwale eri ekibiina kino.” 16Awo bwe yamutusaayo, ne babasanga nga beesuddesudde mu kifo kyonna, nga balya, nga banywa, nga basanyuka olw'omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey'Abafirisuuti ne mu nsi ya Yuda. 17Awo nga buwungeera, Dawudi n'abalumba, n'abalwanyisa okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwaddirira. Era ku bo ne watabaawo n'omu awonawo, okuggyako abavubuka bina (400), abeebagala eŋŋamira ne badduka. 18Dawudi n'asuuza byonna Abamaleki bye baali banyaze; Dawudi n'awonya bakazi be bombi.#1 Sam 30:8 19Ne watabulawo kintu kyonna Abamaleki bye baali banyaze, oba kitono oba kinene, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'omunyago gwonna; Dawudi n'akomyawo byonna. 20Dawudi n'atwala endiga n'ente zonna, ze baagoba okukulembera ensolo ezo endala, n'ayogera nti, “Guno gwe munyago gwa Dawudi.” 21Awo Dawudi n'agenda eri abasajja ebibiri (200), abaali bakooye ennyo ne batayinza kugenda naye era abaasigala ku kagga Besoli. Ne bavaayo okusisinkana Dawudi n'abantu abaali naye. Dawudi bwe yabatuukako, n'abalamusa.#1 Sam 30:10 22Awo abantu bonna ababi n'abatalimu nsa, mwabo abagenda ne Dawudi, ne bagamba nti, “Tetujja kubawa ku munyago gwetusuzizza kubanga tebagenda naffe; wabula buli muntu tumuddize mukazi we n'abaana be bagende.”#1 Sam 25:17 23Awo Dawudi n'ayogera nti, “Baganda bange, si bwe mugenda okukola ku ebyo Mukama by'atuwadde, atuwonyezza n'agabula mu mukono gwaffe ekibiina ekyatutabaala. 24Era tewali ajja kuwuliriza bye mugamba. Eyasigala ng'akuuma ebintu, n'oyo eyagenda ku lutalo, bateekwa okufuna omugabo gwe gumu, bajja kugabana kyenkanyi.”#Kubal 31:27, Yos 22:8 25Okuva ku lunaku olwo, eryo nerifuuka etteeka n'empisa mu Isiraeri ne leero.
26Awo Dawudi bwe yatuuka e Zikulagi, n'aweereza abakadde ba Yuda, mikwano gye, ku munyago ng'agamba nti, “Kino ekirabo kye mbaweerezza, kivudde ku munyango gwe twaggya ku balabe ba Mukama.”#Balam 5:31, 1 Sam 25:27 27N'aweereza ab'e Beseri, n'ab'e Lamosi eky'omu bukiikaddyo, n'ab'e Yattiri, 28n'ab'e Aloweri, n'ab'e Sifumosi, n'ab'e Esutemoa,#Ma 2:36 29n'ab'e Lakali, n'ab'omu bibuga by'Abayerameeri, n'ab'omu bibuga by'Abakeeni,#1 Sam 27:10 30n'ab'e Koluma, n'ab'e Kolasani, n'ab'e Asaki,#Kubal 21:3, Balam 1:17 31n'ab'e Kebbulooni, ne mu bifo byonna Dawudi ne basajja be bye baatambulatambulangamu.#Yos 14:13-15, Balam 1:10, 2 Sam 2:1-4
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.