Ves al contingut

1 Samwiri 26

26
Dawudi era nate agaana okutta Sawulo
1Awo abantu be Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya ne bamugamba nti, “Dawudi teyeekwese ku lusozi Kakira oluli ku njegoyego ze ddungu lye Buyudaaya?”#1 Sam 23:19 2Awo Sawulo n'asituka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde mu Isiraeri enkumi ssatu (3,000), okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu.#1 Sam 23:14; 24:2 3Sawulo n'asiisira ku mabbali g'ekkubo ku lusozi Kakira, oluli ku njegoyego z'eddungu ly'e Buyudaaya. Ye Dawudi yali mu ddungu naamanya nga Sawulo atuuse mu ddungu okumunoonya. 4Dawudi kyeyava atuma abakessi n'ategeera nga Sawulo atuukidde ddala. 5Awo Dawudi n'asituka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde. N'alaba Sawulo we yeebase, wamu ne Abuneeri mutabani wa Neeri, era omukulu w'eggye lya Sawulo. Sawulo yali agalamidde munda mu lusiisira, nga basajja be basiisidde okumwetooloola.#1 Sam 14:50; 17:20,55 6Awo Dawudi n'abuuza Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu nti, “Ani anaaserengeta nange okugenda eri Sawulo mu lusiisira?” Abisaayi n'addamu nti, “Nze n'agenda naawe.”#Balam 7:9-11, 2 Sam 2:18, 1 Byom 2:16 7Ekiro Dawudi ne Abisaayi ne bayingira mu lusiisira lwa Sawulo, ne basanga Sawulo ng'agalamidde, yeebase munda mu lusiisira, effumu lye nga lisimbiddwa emitwetwe we; Abuneeri n'ab'eggye baali beebase okwetooloola Sawulo. 8Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti, “Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero; kale nno, nkwegayiridde, kamufumite effumu omulundi gumu, limuyitemu likwatte ne ttaka, simuzzeko lyakubiri.”#1 Sam 24:4 9Dawudi n'addamu Abisaayi nti, “Tomuzikiriza; kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta n'atabako musango?”#1 Sam 24:6,10; 26:23; 16; 31:4, 2 Sam 1:16 10Dawudi n'ayogera nti, “Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ye alimutta; oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo n'azikiririra eyo.#Lub 47:29, Ma 31:14, Luus 3:13, 1 Sam 25:38; 31:6 11Kikafuuwe nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta; naye nno twala, nkwegayiridde, effumu eriri ku mutwe gwe n'ensumbi y'amazzi tugende.”#1 Sam 24:6; 26:16 12Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya okumpi n'omutwe gwa Sawulo; ne bagenda, so tewali muntu eyakiraba newakubadde eyakimanya, so era tewali eyazuukuka; kubanga bonna baali beebase; Mukama yali abeebasiza otulo otungi.#Lub 2:21; 15:12 13Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira ku ntikko y'olusozi; nga abeesuddeko ebbanga ddene: 14Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'agamba nti, “Owange Abuneeri toddamu?” Awo Abuneeri n'addamu n'abuuza nti, “Ani oyo akoowoola kabaka?” 15Dawudi n'agamba Abuneeri nti, “Toli muzira? Era ani akwenkana mu Isiraeri? Kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? Kubanga waliwo omuntu ayingidde gye muli okuzikiriza kabaka mukama wo. 16Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe.”#1 Sam 26:7,11, 2 Sam 12:5, 1 Bassek 2:26 17Sawulo n'ategeera nga eryo ly'eddoboozi lya Dawudi, awo n'abuuza nti, “Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi?” Dawudi n'addamu nti, “Lye ddoboozi lyange, mukama wange, ayi kabaka.”#1 Sam 24:16 18Dawudi n'ayogera nti, “ Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? Nkoze ki? Oba nzizizza musango ki?#1 Sam 24:9,11 19Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama bwaba nga ye yakulagira okunjiganya, akkirize muwe ekiweebwayo; naye bwe baba nga bantu buntu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga abantu bangobye leero okuva mu nsi ya Mukama ey'obusika bwaffe nga bagamba nti, ‘ Genda oweereze bakatonda abalala.’#Lub 8:21, Leev 26:31, 1 Sam 10:1; 14:16, 1 Bassek 8:53, 2 Bassek 5:17 20Kale nno omusaayi gwange guleme okuyiika mu nsi eteri ya Mukama; kubanga kabaka wa Isiraeri asituse okunoonya nze enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi.”#1 Sam 24:14, Kos 9:3 21Awo Sawulo n'ayogera nti, “Nnyonoonye; komawo, mwana wange Dawudi, kubanga siryeyongera ku kukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nnasiruwala ne nkyama nnyo nnyini.”#1 Sam 15:24; 24:17,18 22Dawudi n'addamu n'agamba nti, “Effumu lyo lirino, ayi kabaka! tuma omu ku balenzi bo aliddukire.#1 Sam 26:12 23Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe, kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.#1 Sam 26:9, Zab 7:8; 18:20 24Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, n'obulamu bwange bubeere bwa muwendo mu maaso ga Mukama, andokole mu kulaba ennaku kwonna.” 25Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti, “Oweebwe omukisa, mwana wange Dawudi; olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula.” Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo ewuwe.#1 Sam 24:20