Перайсці да зместу

ENGERO 7

7
1Mwana wange, kwatanga
ebyo bye nkubuulirira;
togezanga kwerabira
bye nkulagira okukola.
2Ebyo bw'obituukiriza,
oliwangaala.
Bye nkuyigiriza bikuumenga,
nga bw'okuuma
emmunye y'eriiso lyo.
3Byesibenga ku mikono,
obiwandiikenga
mu mutima gwo munda.
4Gambanga amagezi
nti: “Ggwe mwannyinaze,”
oyitenga okutegeera
omuntu w'ekika kyammwe.
5Birikukuuma bikuwonye
omukazi muka bandi
era na buli mukazi akusikiriza
n'ebigambo ebiwoomerevu.
Obukodyo bwa bamalaaya
6Olumu nalingiza mu ddirisa,
eddirisa ery'oku nnyumba yange.
7Ne ndaba ababuyabuya,
omwali omuvubuka
eyali talina magezi.
8Yali atambula mu luguudo
ng'ayita mu kakoona,
awali ennyumba y'omukazi.
9Bwali buzibye nga kiro,
ekizikiza nga kikutte.
10Omukazi n'amusisinkana
ng'ayambadde eby'obwamalaaya,
era ng'akoze entegeka.
11Yayogeranga aleekaana,
era nga muntu muzibu,
bulijjo aba yeewuuba mu nguudo.
12Oluusi ng'ayimirira
n'ateegera mu kasonda,
oluusi mu bifo ebyalukale.
13Awo n'awambaatira omuvubuka,
n'amunywegera,
n'amusimba amaaso,
n'amugamba nti:
14“Mpaddeyo olwaleero
ebiweebwayo olw'okutabagana,
ne ntuukiriza obweyamo bwange,
era nninawo ennyama nnyingi;
15kyenvudde nzija
nkusisinkane.
Nfubye okukunoonya
era nkulabye.
16Obuliri bwange mbwazeeko
essuuka ennungi ez'ebikuubo,
eza ppamba omulungi
ava e Misiri.
17Mu buliri ntaddemu
ebyakawoowo,
eby'obubaane n'omugavu,
n'ebyobuwoowo ebirala.
18Jjangu tusanyuke,
ekiro kyonna tukimale
mu kusinda mukwano,
19kubanga baze taliiyo eka,
yagenda lugendo, ali wala.
20Yagenda n'ensimbi nnyingi nnyo.
Kale ajja kumalayo
wiiki bbiri, alyoke akomewo.”
21Omukazi n'akanya akalimi,
n'akkirizisa evvubuka eryo,
ne limugondera
olw'ebigambo ebisikiriza.
22Ne limugoberera amangwago,
ng'ente gye batwala okutta,
oba ng'ensolo egwa mu mutego,
23mw'eneefumitirwa akasaale efe.
Yali ng'ekinyonyi
ekyanguwa okugwa mu kitimba.
Yali tamanyi nti afa,
nti obulamu bwe buggwaawo!
24Kale baana bange,
muwulire bye ŋŋamba,
mubisseeko omwoyo.
25Tokkirizanga mukazi ng'oyo
kuwugula mutima gwo,
n'ogoberera enkola ye,
26kubanga abasajja
yazikiriza bangi.
Abaafumitibwa ne bafa,
abo tobabala n'omalayo.
27Okugenda ku nnyumba ye,
kuba kusemberera magombe,
kuba kusemberera kufa!