Перайсці да зместу

YISAAYA 3

3
Emivuyo egyagwa mu Yerusaalemu
1Abange, mulabe Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye, anaatera okuggya ku Yerusaalemu ne ku Buyudaaya, buli kintu kye mwetaaga okweyimirizaawo. Agenda okubaggyako emmere n'amazzi, 2abaggyeko abantu ab'amaanyi n'abazira, abalamuzi n'abalanzi, abalaguzi n'abakulembeze, 3abakulira abantu ataano ataano mu magye, n'abantu abakulu abeekitiibwa, n'abawi b'amagezi, n'abakola emirimu egyekikugu, n'abagezigezi abawanuuza ebinaabaawo. 4Mukama alireka abantu be okukulemberwa abalenzi abato, abafuga nga bakyukakyuka mu nkola yaabwe awatali nsonga. 5Abantu tebalissaŋŋanamu kitiibwa. Abaana abato balijooga abantu abakulu, n'abatwalibwa balinyooma bakama baabwe.
6Ekiseera kirituuka abazaalibwa mu nnyumba emu, ne bagamba omu ku baganda baabwe nti: “Waakiri ggwe nga bw'olina k'oyambala, ggwe oba otukulira, olabirire bino ebifaafaaganye.”
7Ku olwo, alyerwanako ng'agamba nti: “Sijja kubaako kye nnyamba, kubanga ewange nange sirinaayo mmere, wadde olugoye olw'okwambala. Temunnonda kubakulira.”
8Weewaawo Yerusaalemu zikisanze, n'Obuyudaaya buzikiridde! Kubanga byonna abantu bye bakola ne bye boogera, biwakanya Mukama, binyooma ekitiibwa kye. 9Entunula yaabwe yennyini, ebalumiriza omusango. Ebibi byabwe babikola kyere ng'ab'e Sodoma, tebabikisa. Zibasanze, kubanga beereetedde bokka akabi.
10Mubuulire abayisa obulungi nti baliba bulungi, kubanga baliganyulwa ebiva mu birungi bye bakoze. 11Naye ababi zibasanze, banaabeeranga bubi, kubanga bye bakoze, nabo bye binaabakolwangako.
12Abantu bange, abanyigirizibwa baana bato, era bakazi be babafuga! Ayi mmwe abantu bange, abakulembeze bammwe babakyamya, babaggya ku bituufu, ne babakozesa ebikyamu.
Mukama asalira abantu be omusango
13Mukama asituse n'ajja okulumiriza abantu be, ayimiridde okubasalira omusango. 14Mukama anaasalira abakulembeze n'abakungu b'abantu be omusango. Abalumiriza bw'ati: “Munyaguludde ennimiro z'emizabbibu, era amayumba gammwe gajjudde ebintu bye munyaze ku baavu. 15Mubadde mutya, mmwe ababetenta abantu bange, ne munyigira abaavu ku lwala ng'enkukunyi? Nze Mukama Afugabyonna, Nnannyinimagye, Nze mbuuza.”
Okulabula abakazi b'omu Yerusaalemu
16Mukama era n'agamba nti: “Abakazi b'omu Yerusaalemu balina amalala. Batambula balalambazizza ensingo, era nga batunuza bukaba. Batambuza ssimbo, nga bagenda batta ku bigere, nga bakoona engatto ziwulirwe. 17N'olwekyo, Nze Mukama, emitwe gyabwe ndigifuula gya biwalaata, ne gisigala nga tekuli nviiri, baswale.”
18Ekiseera ekyo bwe kirituuka, Mukama aliggya ku bakazi b'e Yerusaalemu eby'obuyonjo byonna ebibaleetera okwekulumbaza: bye bambala ku bukongovvule, bye batikkira ku mitwe gyabwe, ne bye beenaanika mu bulago, 19ne ku mikono gyabwe, n'ebitambaala bye beebikkirira ku maaso, 20ne bye beesiba ku mitwe, n'obukomo obw'emikisa bwe bambala ku mikono, n'embira ze beesiba mu biwato; 21n'empeta ze beenaanika ku ngalo, ne ze beetunga mu nnyindo, 22n'engoye ez'ebbeeyi, n'eminagiro, n'essuuka ze basuulira, n'ensawo ez'omu ngalo; 23endabirwamu, n'engoye ez'obutimba, n'ezo enjeru ennungi, n'ebiremba eby'omu mutwe, n'engoye ez'okwebikkirira.
24Mu kifo ky'ebyakawoowo, baliwunya kivundu. Mu kifo ky'olwebagyo, balyesibya miguwa. Mu kifo ky'enviiri ensunsule obulungi, baliba na biwalaata. Ne mu kifo ky'engoye ennungi, balyambala bikutiya. Obubalagavu bwabwe bulifuuka nsonyi. 25Bo abasajja b'omu Yerusaalemu, wadde abo abazira, balittirwa mu lutalo. 26Enzigi za Yerusaalemu zirikungubaga, ne zitema emiranga. Yerusaalemu kyennyini kiriba ng'omukazi akubiddwa ennaku, atuula ku ttaka ng'asobeddwa.