Перайсці да зместу

HOSEYA 4

4
Mukama avunaana Abayisirayeli
1Abayisirayeli muwulire Mukama ky'agamba, kubanga Mukama alina ky'avunaana abantu abali mu nsi eno. Tewali mazima wadde ekisa, era abantu tebamanyi Katonda mu nsi eno. 2Ekiriwo kwe kukolima, okulimba, okutemula, okubba n'okwenda. Okuzza emisango kweyongera bweyongezi era obutemu buddirira butemu. 3Ensi kyeriva ekala, na buli kiramu ekigiriko ne kifa. Ensolo zonna n'ebinyonyi n'ebyennyanja birifa.
Mukama avunaana bakabona
4Mukama agamba nti:
“Waleme kubaawo n'omu
avunaana bantu,
wadde abanenya.
Be nvunaana ye mmwe bakabona.
5Mukola ensobi emisana n'ekiro,
n'abalanzi nabo kye bakola nga mmwe.
Nja kuzikiriza Yisirayeli nnyammwe.
6Abantu bange bazikirizibwa,
olw'obutamanya.
Mmwe bakabona
nga bwe mugaanye okummanya,
nange ndibagaana
okuba bakabona bange.
Era nga bwe mwerabidde
amateeka gange, nze Katonda wammwe,
nange ndyerabira abaana bammwe.
7“Bakabona gye bakoma okweyongera obungi,
gye bakoma n'okwonoona mu maaso gange.
Ekitiibwa kyabwe ndikifuula ensonyi.
8Bagaggawalira ku bibi by'abantu bange,
kyebava baagala abantu
beeyongere okwonoona.
9Ng'abantu bwe bali,
ne bakabona bwe baliba.
Ndibabonereza olw'empisa zaabwe,
mbasasuze olw'ebikolwa byabwe.
10Balirya naye tebalikkuta,
balyenda naye tebalyala,
kubanga banvuddeko nze Mukama,
okusinza balubaale.”
Mukama avumirira obukaafiiri
11Mukama agamba nti:
“Omwenge omukulu n'omusu,
gumalawo okutegeera.
12Abantu bange beebuuza
ku kitiititi,
omuggo gwabwe gwe gubabuulira
kye baagala okumanya.
Bakoze ng'omukazi omwenzi:
banvuddeko nze Katonda waabwe,
ne beewaayo mu balubaale.
13Basalira ebitambiro
ku ntikko z'ensozi,
ne bootereza obubaane ku busozi,
wansi w'emiti emiwanvu n'emyagaagavu,
kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi.
“Abaana bammwe abawala
kyebava beefuula bamalaaya,
ne bakazi bammwe ne benda.
14Siribonereza bawala bammwe
bwe beefuula bamalaaya,
wadde bakazi bammwe
bwe beefuula abenzi,
kubanga mmwe mwennyini
mudda wabbali awamu n'abakazi
bamalaaya ab'omu masabo,
ne muweerayo wamu nabo ebitambiro.
Abantu abatategeera balizikirira.
15“Newaakubadde mmwe Abayisirayeli
temuli beesigwa gye ndi,
naye ab'omu Buyudaaya
baleme kusobya nga mmwe.
Temusinzizanga Gilugaali,
wadde e Betaveni.#4:15 Betaveni: Kiva mu “Bet-aven”, “ennyumba y'omubi”. Wano omulanzi lye linnya ly'atuuma ekifo ekiyitibwa “Beth-el”, ekitegeeza “Ennyumba ya Katonda”
Era temulayiranga nti:
‘Nga Mukama bw'ali omulamu.’
16Abayisirayeli babambaavu
ng'ente enduusi.
Kale nze Mukama
nnaabaliisa ntya
ng'omwana gw'endiga
mu ddundiro eggazi?
17Abayisirayeli basikiriziddwa
okusinza ebitali Katonda.
Kale basigale nga bwe bali.
18Bwe bamala okutamiira,
beemalira mu bwenzi.
Baagala ensonyi
okusinga bwe baagala ekitiibwa.
19Balitwalibwa embuyaga,
era balikwatibwa ensonyi
olw'ebitambiro byabwe.