1
Abaruumi 6:23
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Karşılaştır
Abaruumi 6:23 keşfedin
2
Abaruumi 6:14
Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.
Abaruumi 6:14 keşfedin
3
Abaruumi 6:4
Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
Abaruumi 6:4 keşfedin
4
Abaruumi 6:13
Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda.
Abaruumi 6:13 keşfedin
5
Abaruumi 6:6
Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi.
Abaruumi 6:6 keşfedin
6
Abaruumi 6:11
Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.
Abaruumi 6:11 keşfedin
7
Abaruumi 6:1-2
Kale tunaagamba tutya? Tweyongere okwonoona, olwo ekisa kya Katonda kiryoke kyeyongere? Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola?
Abaruumi 6:1-2 keşfedin
8
Abaruumi 6:16
Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu.
Abaruumi 6:16 keşfedin
9
Abaruumi 6:17-18
Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.
Abaruumi 6:17-18 keşfedin