Matayo 9

9
Yesu awonya omulwadde eyali akoozimbye
(Mak 2:1-12, Luk 5:17-26)
1 # Mak 1:1-12, Luk 5:17-26 Awo Yesu n'asaabala mu lyato, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe.#Mat 4:13 2Awo ne bamuleetera omulwadde eyali akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda; naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 3Kale, laba, abawandiisi abalala ne boogera mu myoyo gyabwe nti, “Ono avvoola Katonda.”#Mak 2:7 4Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti, “Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe?#Mat 12:25, Yok 2:25 5Kubanga ekyangu kiruwa, okugamba nti, ‘Ebibi byo bikusonyiyiddwa,’ oba okugamba nti, ‘Golokoka otambule?’ 6Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi,” n'agamba oyo eyali akoozimbye nti, “Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.” 7N'ayimirira, n'addayo ewuwe. 8Naye ebibiina bwe byalaba ne bitya, ne bigulumiza Katonda, eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo.
Yesu ayita Matayo
(Mak 2:13-17, Luk 5:27-32)
9Yesu bwe yavaayo n'alaba omuntu, ayitibwa Matayo, ng'atudde mu ggwoolezo; n'amugamba nti, “Yita nange.” N'asituka, n'amugoberera. #Mak 2:13-17, Luk 5:27-32
10Awo olwatuuka, Yesu bwe yali ng'atudde mu nju ng'alya, laba, abawooza bangi ne bajja, n'abantu ababi bangi, ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa. 11Abafalisaayo bwe baalaba ekyo, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Omuyigiriza wammwe kiki ekimuliisa n'abawooza n'abantu ababi?”#Luk 15:2 12Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde. 13Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti, ‘Njagala kisa, so si ssaddaaka,’ kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi.”#Kos 6:6, 1 Sam 15:22, Mat 18:11
Okusiiba
(Mak 2:18-22, Luk 5:33-39)
14 # Mak 2:18-22, Luk 5:33-38 Awo abayigirizwa ba Yokaana, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Kiki ekitusiibya ffe n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo nga tebasiiba?”#Luk 18:12 15Yesu n'abaddamu nti, “Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala awasizza omugole ng'akyali nabo? Naye ennaku zigenda okujja awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba.#Yok 3:29 16Tewali muntu atunga kiwero ekiggya mu kyambalo ekikadde; kubanga ekyo ekitungibwamu kiyuza ekyambalo, n'ekituli kyeyongera okugaziwa.#Yok 1:17 17So tebateeka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana; naye bateeka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama.”
Muwala wa Yayiro n'omukazi eyakwata ku kyambalo kya Yesu
(Mak 5:21-43, Luk 8:40-56)
18Bwe yali ng'akyabagamba ebigambo ebyo, ne wajja omwami omu, n'amusinza n'agamba nti, “Muwala wange kaakano afudde; naye jjangu omuteekeko emikono, anaalamuka.”#Mak 5:22-43, Luk 8:41-56 19Yesu n'asituka n'amugoberera, wamu n'abayigirizwa be. 20Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri (12), n'ajja emabega wa Yesu, n'akoma ku lukugiro lw'ekyambalo kye; 21kubanga yayogera mu mwoyo gwe nti, “Bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”#Mat 14:36 22Naye Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti, “Mwana wange, guma omwoyo; okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Omukazi n'awona okuva mu kiseera ekyo. 23Yesu bwe yatuuka mu nju y'omwami oyo, n'alaba abafuuwa endere, n'ekibiina nga bakuba ebiwoobe, 24n'agamba nti, “Muveewo, kubanga omuwala tafudde, wabula yeebase bwe basi.” Ne bamusekerera nnyo.#Yok 11:11,14,25 25Naye ekibiina bwe kyamala okugobebwawo, n'ayingira, n'amukwata ku mukono; omuwala n'agolokoka. 26Ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi eyo yonna.
Yesu awonya bamuzibe babiri
27Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti, “Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi.” 28Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali; Yesu n'ababuuza nti, “Mukkirizza nga nnyinza okukola kino?” Ne bamuddamu nti. “Weewaawo, Mukama waffe.” 29N'alyoka akwata ku maaso gaabwe ng'agamba nti, “Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo.”#Mat 8:13 30Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti, “Mulabe tewaba muntu n'omu amanya.”#Mat 8:4 31Naye bo ne bafuluma, ne babunya ebigambo bya Yesu mu nsi eyo yonna.
Yesu awonya kasiru
32Awo bwe baali bafuluma ne bamuleetera kasiru, ng'aliko dayimooni. 33Yesu n'amugobako dayimooni, kasiru n'ayogera; ebibiina ne byewuunya, ne bigamba nti, “Edda n'edda tewalabikanga ekiri nga kino mu Isiraeri.” 34Naye Abafalisaayo ne bagamba nti, “Agoba dayimooni nga akozesa buyinza bwa mukulu wa dayimooni.”#Mat 12:24
Yesu akwatirwa abantu ekisa
35Yesu n'ayitayita mu bibuga byonna, n'embuga zonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna.#Mat 4:23 36Naye bwe yalaba ebibiina, n'abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng'endiga ezitalina musumba.#Mat 14:14, Mak 6:34, Kubal 27:17, Ez 34:5 37N'alyoka agamba abayigirizwa be nti, “Eby'okukungula bye bingi, naye abakozi be batono.#Luk 10:2 38Kale musabe Omwami w'eby'okukungula, asindike abakozi mu by'okukungula bye.”

Айни замон обунашуда:

Matayo 9: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy