Matayo 8

8
Yesu alaga obuyinza n'amaanyi ge
(8:1—9:38)
Yesu awonya omugenge
(Mak 1:40-45, Luk 5:12-16)
1Yesu bwe yava ku lusozi, ebibiina by'abantu ne bimugoberera.#Mak 1:40-44, Luk 5:12-14 2Kale, laba, omugenge n'amusemberera n'amusinza, n'agamba nti. “Mukama wange, bw'oyagala, oyinza okunnongoosa.” 3Yesu n'agolola omukono, n'amukwatako, ng'agamba nti, “Njagala; longooka.” Amangu ago ebigenge bye ne birongooka. 4Yesu n'amugamba nti, “Laba tobuulirako muntu n'omu; naye genda weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagira, kibeere omujulirwa gyebali.” #Mat 9:30, Mak 7:36, Luk 17:14, Leev 13:49; 14:2-32
Yesu awonya mulenzi w'omuserikale Omuruumi
(Luk 7:1-10)
5 # Luk 7:1-10 Yesu bwe yayingira mu Kaperunawumu, omwami w'ekitongole Omuruumi n'ajja gy'ali, n'amwegayirira,#Yok 4:47 6ng'agamba nti, “Mukama wange, mulenzi wange agalamidde mu nnyumba akoozimbye, abonaabona kitalo.” 7Yesu n'amugamba nti, “Najja ne mmuwonya.” 8Omwami w'ekitongole Omuruumi n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange, sisaanira ggwe okuyingira wansi w'akasolya kange: naye yogera kigambo bugambo, mulenzi wange anaawona. 9Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala; bwe ŋŋamba oyo nti, ‘Genda,’ agenda, n'omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n'omuddu wange nti, ‘Kola bwoti,’ bw'akola.” 10Naye Yesu bwe yawulira, ne yeewuunya, n'agamba abaayita naye nti, “Ddala mbagamba nti Sinnalaba kukkiriza kunene nga kuno, newakubadde mu Isiraeri.#Mat 15:28 11Nange mbagamba nti Bangi abaliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, abalituula awamu ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, mu bwakabaka obw'omu ggulu, #Luk 13:28,29, Is 49:12; 59:19, Mal 1:11, Zab 107:3 12naye abaana b'obwakabaka baligoberwa mu kizikiza eky'ebweru; ye eriba okukaaba n'okulumwa obujiji.”#Mat 22:13; 24:51; 25:30 13Yesu n'agamba omwami w'ekitongole Omuruumi nti, “Kale genda; nga bw'okkirizza, kibeere gy'oli bwe kityo.” Omulenzi n'awonerawo mu kiseera ekyo. #Mat 9:29; 15:28
Yesu awonya abantu bangi
(Mak 1:29-34, Luk 4:38-41)
14 # Mak 1:29-34, Luk 4:38-41 Yesu bwe yayingira mu nnyumba ya Peetero, n'alaba nnyazaala wa Peetero ng'agalamidde alwadde omusujja.#1 Kol 9:5 15N'amukwata ku mukono, omusujja ne gumuwonako; n'agolokoka, n'amuweereza. 16Obudde bwali buwungedde, ne bamuleetera bangi abakwatiddwa dayimooni; n'agoba dayimooni n'ekigambo n'awonya bonna abaali balwadde. 17Ekigambo kituukirire ekyayogerwa nnabbi Isaaya, ng'agamba nti, “Ye yennyini yatwala obunafu bwaffe, ne yeetikka endwadde zaffe.”#Is 53:4
Ebigwanira abagoberezi ba Yesu
(Luk 9:57-62)
18Awo Yesu bwe yalaba nga ebibiina bingi nga bimwetoolodde, n'alagira bagende emitala w'eri.#Mak 4:35, Luk 8:22 19Omuwandiisi omu n'ajja, n'amugamba nti, “Omuyigiriza, nnaayitanga naawe buli gy'onoogendanga yonna.”#Luk 9:57-60 20Yesu n'amugamba nti, “Ebibe birina obunnya, n'ennyonyi ez'omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w'omuntu talina w'assa mutwe gwe.”#2 Kol 8:9 21Omuyigirizwa we omulala n'amugamba nti, “ Mukama wange, sooka ondeke ŋŋende nziike kitange.”#1 Bassek 19:20 22Naye Yesu n'amugamba nti, “Yita nange; leka abafu baziike abafu baabwe.”#Yok 1:43; 5:25, Bar 6:13
Yesu akkakkanya omuyaga
(Mak 4:35-41, Luk 8:22-25)
23Awo Yesu n'asaabala mu lyato, abayigirizwa be ne bamugoberera.#Mak 4:36-41, Luk 8:23-25 24Omuyaga ogw'amaanyi ne gukunta ku nnyanja, amayengo ne gakuba eryato; naye Yesu yali yeebase.#Zab 4:8 25Abayigirizwa be ne bajja gy'ali ne bamuzuukusa, nga bagamba nti, “ Mukama waffe, tulokole; tufa.” 26Yesu n'abagamba nti, “Kiki ekibatiisa, mmwe abalina okukkiriza okutono?” N'alyoka agolokoka, n'alagira omuyaga n'amayengo okukkakkana, ennyanja n'eteeka nnyo.#Mat 14:31; 16:8 27Abantu ne beewuunya, ne bagamba nti, “Muntu ki ono, empewo n'ennyanja okumuwulira?”
Yesu awonya abasajja babiri abaliko Dayimooni
(Mak 5:1-20, Luk 8:26-39)
28Awo Yesu bwe yatuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagadaleni, abantu babiri abaaliko dayimooni, ne bamusisinkana nga bava mu ntaana, baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza okuyita mu kkubo eryo.#Mak 5:1-17, Luk 8:26-37 29Laba, ne boogerera waggulu ne bagamba nti, “Otuvunaana ki, ggwe Omwana wa Katonda? Ozze wano kutubonyaabonya ng'entuuko zaffe tezinnaba kutuuka?”#Luk 4:41, 2 Peet 2:4 30Waaliwo walako okuva ne we baali ekisibo ky'embizzi nnyingi nga zirya. 31Dayimooni ne gimwegayirira ne gigamba nti, “Bw'oba otugoba, ku bantu bano tusindike mu kisibo ky'embizzi.” 32N'agigamba nti, “Mugende.” Ne gibavaako, ne gigenda mu mbizzi; kale, laba ekisibo kyonna ne kifubutuka ne kiserengetera ku bbangabanga, ne kyesuula mu nnyanja, ne zifiira mu mazzi. 33N'abaali balunda embizzi ne badduka, ne bagenda mu kibuga, ne bababuulira byonna, n'ebikwata ku bali ababaddeko dayimooni. 34Laba, ekyalo kyonna ne kijja okusisinkana Yesu; bwe baamulaba, ne bamwegayirira okuva mu kitundu kyabwe.

Айни замон обунашуда:

Matayo 8: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy