Matayo 7

7
Okwekuuma okusalira abalala omusango
(Luk 6:37-38,41-42)
1 “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa. # Bar 2:1, 1 Kol 4:5 2Kubanga omusango nga bwemugusalira abalala, nammwe bwe gulibasalirwa, era ekigera kye mugereramu, ekyo nammwe kye muligererwamu.#Mak 4:24 3Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe? 4Oba oligamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeeko akantu akali ku liiso lyo; sso nga ku liiso lyo kuliko enjaliiro? 5Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo.
Ekintu Ekitukuvu
6 “Ekintu ekitukuvu temukiwanga mbwa, era temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma.” #Mat 10:11-14
Okunyikirira okusaba, okunoonya n'okweyanjulira Katonda
(Luk 11:9-13)
7 Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo; # Mak 11:24, Luk 11:9-13, Yer 29:13,14, Yok 14:13; 16:23 8kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; n'eyeeyanjula aliggulirwawo. 9Muntu ki mu mmwe, omwana we bw'alimusaba emmere, alimuwa ejjinja; 10oba bw'alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota? 11Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abo abamusaba?#Yak 1:17 12Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe bwe mutyo mubibakolenga; kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.#Mat 22:39,40, Bar 13:8-10
Okufuba okuyingira mu mulyango omufunda
(Luk 13:24)
13 Muyingire mu mulyango omufunda; kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo lyangu eridda mu kuzikirira, n'abo abaliyitamu bangi. # Luk 13:24, Yok 10:7,9 14Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo zibu eridda mu bulamu, n'abo abaliraba batono. #Mat 19:24, Bik 14:22
Okwekuumanga bannabbi ab'obulimba
(Luk 6:43-44)
15 Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye nga munda gy'emisege egisikula. # Mat 24:4,5,24, Bik 20:29 16Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango?#Bag 5:19-23, Yak 3:12 17Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi.#Mat 12:33 18Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi. 19Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro.#Mat 3:10, Yok 15:2,6 20Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.
Akola Katonda byayagala yaliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu
(Luk 13:25-27)
21 “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala. # Mat 21:29, Bar 2:13, Yak 1:22,25; 2:14, 1 Kol 12:3 22Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo?#Yer 14:14; 27:15, Luk 13:25-27, 1 Kol 13:1,2 23Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe; muve we ndi mmwe mwenna abaakola eby'obujeemu.” #Mat 13:41; 25:41, 2 Tim 2:19, Zab 6:8
Okugeraageranya omuwulize n'omujeemu eri Katonda
(Luk 6:47-49)
24 Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: # Mat 7:21 25enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu; 27enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne bikuba enju eyo; n'egwa, n'okugwa kwayo kwali kunene. #Ez 13:10,11
28Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe,#Mat 11:1; 13:53; 19:1; 26:1, Mak 1:22, Luk 4:32 29kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi baabwe.#Yok 7:46

Айни замон обунашуда:

Matayo 7: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy