Matayo 26

26
Okubonyaabonyezebwa n'okukomererwa kwa Kristo
(26:1—27:66)
Olukwe olw'okutta Yesu
(Mak 14:1-2, Luk 22:1-2, Yok 11:45-53)
1Awo olwatuuka, Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti, #Mat 7:28; 11:1; 13:53; 19:1 2#Mak 14:1,2, Luk 2:1,2“Mumanyi nti oluvannyuma lw'ennaku bbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.”#Mat 20:18 3Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwanga Kayaafa; 4ne bateeseeza wamu okukwata Yesu mu magezi; bamutte. 5Naye ne bagamba nti, “Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okwegugunga.”
Yesu afukibwako amafuta e Bessaniya
(Mak 14:3-9, Yok 12:1-8)
6Awo Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge,#Mak 14:3-9, Luk 7:36-50, Yok 12:1-8 7omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya. 8Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti, “Gafudde ki gano? 9Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ensimbi nnyingi, ne zigabirwa abaavu.” 10Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti, “Mumunakuwaliza ki omukazi? Kubanga ankoze ekigambo ekirungi.#Luk 11:7 11Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye nze temuli nange bulijjo.#Ma 15:11 12Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika. 13Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.”
Yuda akkiriza okulya mu Yesu olukwe
(Mak 14:10-11, Luk 22:3-6)
14Awo omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12), eyayitibwanga Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu,#Mak 14:10,11, Luk 22:3-6 15n'abagamba nti, “Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli?” Ne bamusasula ebitundu bya ffeeza asatu (30).#Yok 11:57, Zek 11:12 16Okuva mu kiseera ekyo Yuda n'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo.#1 Tim 6:9,10
Yesu alya embaga y'okuyitako n'abayigirizwa be
(Mak 14:12-21, Luk 22:7-14,21-23, Yok 13:21-30)
17Awo ku lunaku olusooka olw'Embaga eriirwako emigaati egitazimbulukusiddwa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti, “Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'on'okuliira?”#Mak 14:12-16, Luk 22:7-13, Kuv 12:18-20 18Yesu n'abagamba nti, “Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti, ‘Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.’ ”#Mat 21:3 19Abayigirizwa be ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako. 20Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu n'atuula okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri (12).#Mak 14:17-26, Luk 22:14-23, Yok 13:21-26 21Baali balya, Yesu n'abagamba nti, “Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.” 22Abayigirizwa ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumubuuza nti, “Mukama wange, ye nze?” 23Yesu n'addamu n'agamba nti, “Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.” 24“Omwana w'omuntu agenda, nga bwe kyamuwandiikibwako; naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.” 25Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti, “Labbi, ye nze?” Yesu n'amugamba nti, “Ggwe oyogedde.”
Eky'ekiro kya Mukama waffe
(Mak 14:22-26, Luk 22:14-20, 1 Kol 11:23-25)
26Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti, “Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange.”#Mat 14:19, 1 Kol 11:23-25 27Ate n'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa ng'agamba nti, “Munywe ku kino mwenna; 28kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi.#Kuv 24:8, Yer 31:31, Zek 9:11 29Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.”
30Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni.#Zab 113—118, Luk 22:39, Yok 18:1
Yesu alanga Peetero okumwegaana
(Mak 14:27-31, Luk 22:31-34, Yok 13:36-38)
31 # Mak 14:27-31, Luk 22:31-34 Awo Yesu n'abagamba nti, “Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino; kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa.’#Zek 13:7, Yok 16:32 32Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”#Mat 28:7 33Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Abalala bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono.” 34Yesu n'amugamba nti, “Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”#Yok 13:38 35Peetero n'addamu n'amugamba nti, “Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono.” N'abayigirizwa abalala bonna ne boogera bwe batyo.#Mat 26:56
Yesu mu lusuku e Gesusemane
(Mak 14:32-42, Luk 22:39-46)
36Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, Yesu n'agamba abayigirizwa be nti, “Mutuule wano, nze ŋŋende eri nsabe.”#Mak 14:32-42, Luk 22:40-46 37N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atandika okunakuwala n'okweraliikirira ennyo.#Beb 5:7 38Awo n'abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku ya kitalo, egenda kunzita; mubeere wano, mutunule wamu nange.”#Zab 42:6, Yok 12:27 39N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti, “Ayi Kitange, oba kiyinzika ekikompe kino kinveeko; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.”#Yok 18:11, Beb 5:8 40N'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti, “Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu? 41Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa; omwoyo gwo gwagala naye omubiri gwe munafu.”#Beb 2:14; 4:15 42Era n'agenda omulundi ogwokubiri, n'asaba, ng'agamba nti, “Ayi Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe.” 43Awo n'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. 44Yesu n'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogwokusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri ebyasooka.#2 Kol 12:8 45Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti, “Era mukyebase n'okuwumulira ddala? Mulabe ekiseera kituuse, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi. 46Muyimuke tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.”#Yok 14:31
Okukwatibwa kwa Yesu
(Mak 14:43-50, Luk 22:47-53, Yok 18:3-12)
47Awo Yesu yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku bayigirizwa ekkumi n'ababiri (12), n'ajja ng'alina ekibiina ekinene ekirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu.#Mak 14:43-50, Luk 22:47-53, Yok 18:3-12 48Naye oyo eyalya mu Yesu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti, “Omuntu gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate.” 49Amangwago Yuda n'ajja awali Yesu, n'agamba nti, “Mirembe, Labbi!” N'amunywegera nnyo. 50Yesu n'amugamba nti, “Munnange, kola ky'ojjiridde.” Awo ne bajja, ne bavumbagira Yesu ne bamukwata ne bamunyweza. 51Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu. 52Awo Yesu n'amugamba nti, “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo; kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.#Lub 9:6, Kub 13:10 53Olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika abasoba mu liigyoni ekkumi n'ebbiri (12)?#Yo 2:11 54Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?” 55Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti, “Muzze okunkwata nga mulina ebitala n'emiggo ng'abajjiridde omunyazi? Nnatuulanga buli lunaku mu Yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata. 56Naye bino byonna bikoleddwa, bannabbi bye baawandiika bituukirizibwe.” Awo abayigirizwa be bonna ne bamwabulira, ne badduka.#Mat 26:31
Yesu mu maaso ga Kayaafa
(Mak 14:53-65, Luk 22:54-55,63-71, Yok 18:13-14,19-24)
57Awo bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baali bakuŋŋaanidde.#Mak 14:53-72, Luk 22:54-71, Yok 18:12-27 58Naye Peetero yagoberera Yesu ng'amuvaako emabega wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira. 59Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte; 60ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne wajjawo babiri (2), 61ne bagamba nti, “Ono yagamba nti, ‘Nnyinza okumenya Yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu (3).’”#Yok 2:19-21 62Awo Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amubuuza nti, “Toyanukula n'akatono? Kigambo ki bano kye bakulumiriza?” 63Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti, “Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”#Mat 27:12 64Yesu n'amugamba nti, “Oyogedde, naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, era ng'ajjira ku bire eby'eggulu.”#Zab 110:1, Mat 16:27; 24:30, Dan 7:13 65Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti, “Avvodde Katonda, twagalira ki nate abajulirwa? Laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe.#Mat 9:3, Yok 10:33 66Mulowooza mutya?” Ne baddamu ne bagamba nti, “Agwanidde kufa.”#Yok 19:7, Leev 24:16 67Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde; abalala ne bamukuba empi,#Is 50:6 68nga bagamba nti, “Tulagule, Kristo, ani akukubye?”
Peetero yeegaana Yesu
(Mak 14:66-72, Luk 22:56-62, Yok 18:15-18,25-27)
69Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango, omuwala n'ajja gy'ali, n'amugamba nti, “Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya.” 70Naye Peetero ne yeegaanira mu maaso ga bonna, ng'agamba nti, “Ky'ogamba sikimanyi.” 71Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti, “N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi.” 72Peetero ne yeegaana nate, n'alayira nti, “Omuntu oyo simumanyi.” 73Ne wayitawo ebbanga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti, “Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekuloopa.” 74Awo Peetero n'atandika okukolima n'okulayira nti, “Omuntu oyo simumanyi.” Amangwago enkoko n'ekookolima. 75Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaana emirundi esatu (3).” Awo Peetero n'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.#Mat 26:34

Айни замон обунашуда:

Matayo 26: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy